Emizannyo
Banabyamizanyo abaakikirira uganda bakomyewo ku butaka.
Bya Samuel Ssebuliba.
Wetwogerera nga banabyamizanyo ba Uganda abaatukikira mu mpaka ez’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza bataka mu Uganda oluvanyuma lw’okuwangula emidaali mukaaga mu mpaka zino.
Bano mukutuuka baniriziddwa minister akola ku by’enjigiriza n’emizanyo Janet Kataha Museveni, nga ono obwedda ali ku kisaawe E ntebe abalinze.
Nga abakatuuka omu kubawangudde emidaali nga ono ye Josua Kiptegei ategeezeza nti musanyufu okulaba nga team yonna eyaniriziddwa mu kitiibwa, kale nga kino kibawade amaanyi.
Ate ye akola ku police n’omuntu waabulijjo Asan Kasingye , nga naye abadewo ku kisaawe e Ntebe agambye nti police eriko ettu lyetegekedde abaserikale ba police abeetabye mu misinde gino, kubanga olukiiko olufuga police lwatudde ne lwogera ku nsonga zino.