Emizannyo
Beckham yali afuuse nantagambwaako
Eyali omutendesi wa Manchester United, Sir Alex Fergusson avuddemu omwaasi ku nsonga za David Beckham
Ferguson ng’ayogerako eri bannamawulire agambye nti Beckham yali awulira agezze nnyo n’okumusinga era nga yalina okweyongerayo
Ono agambye nti yayawukana ne Beckham oluvanyuma lw’okumunenyaako ow’engeri gyebazanyamu mu kikopo kya FA, tiimu ya Arsenal emale ebawangule.
Beckham, eyawangula ebikopo ya Premier 6 n’ebya FA 2 kko n’ekya champions 1 yatundibwa mu tiimu kya Real Madrid mu mwaka gwa 2003