Emizannyo

Wenger yewaaanye

Ali Mivule

November 3rd, 2013

No comments

Arsenal wins

Akulira tiimu ya Arsenal, Arsene Wenger agamba nti musanyufu nti basobodde okukakasa ensi nti bakyalimu ssupu.

Kino kiddiridde Arsenal okukuba Liverpool goolo 2 nga yyo eyanjala ngalo

Wenger agambye nti bagenze okuzannya nga bamaliridde oluvanyuma lw’okuwangulwa emirundi ebiri nga bali waka.

Wenger agamba nti ate kyamusnayudde nyo nti bawangudde ne goolo entangaavu nga tewalikubuusabuusa tegwabadde mukisa wabula bumanyirivu.