Emboozi
Fergie awaanye Van Persie, Rooney, Chicharito ne Welbeck
OMUPIIRA
Omutendesi wa Man United agamba nti abateebi baalina mu kiseera kino omuli Robin van Persie, Wayne Rooney, Javier ‘Chicharito’ Henandez ne Danny Welbeck basingako be yalina mu 1999 abaamuwangulira ekikopo kya Bulaaya gattako ebirala entoko. Mu bano kwaliko Andy Cole, Dwight Yorke, Ole Gunnar Solskjaer ne Teddy Sheringham.
MANCHESTER
Sir Alex Ferguson avuddeyo n’ategeeza nti abateebi United b’erina mu kiseera kino bayitirivu, era agamba nti tewali ‘kyoto’ kye yali abadde nakyo nga kisinga kino. Mu bano mulimu Wayne Rooney, Robin van Persie, Javier Hernandez ne Danny Welbeck, era agamba nti tabeerangako na bateebi basinga ku bano.
Newankubadde Andy Cole, Dwight Yorke, Ole Gunnar Solskjaer ne Teddy Sheringham baakola kinene okuwangulira Ferguson ekikopo kya kiraabu za Bulaaya empanguzi mu 1999 (gwe gwali omulundi gwe ogusooka), ye agamba nti abaliwo ku mulembe guno tebawunyikamu. Bino yabyogedde wiiki ewedde nga Man United y’akamala okukuba Fulham 4-1 mu mpaka za FA. Hernandez yateebyeko bbiri, Rooney yateebye emu, era kitegeeza nti abateebi abana baakateeba omugatte gwa ggoolo 49, okusingako ku ba 1999 abaateeba ggoolo 46 mu kiseera nga kino.
Ate jjukira nti Rooney yalesse Ryan Giggs n’asimula ppenati gye baafunye kubanga ennaku zino eby’okusimula ppenati baabimuggyako okuva lwe yalemwa okugiteeba nga bazannya ne West Ham.
Bwe yabuuziddwa oba abateebi b’alina mu kiseera kino be basinga okuva lwe yatandika okutendeka United, Fergie yatgeezezza nti kituufu tewali babasinga, newankubadde yasimye omulimu ogwakolwa abaaliwo mu 1999.
Mu kiseera kino, Hernandez yaakateeba ggoolo 14, Van Persie yakateeba 22, Rooney yaakateeba 12 ate Welbeck ateebye emu yokka, nga zonna omugatte ziri 47. Mu 1998-99, Yorke yali ateebye 18, Cole yalina 15, Solskjaer yalina 11 ate Sheringham yali alina bbiri nga balina omugatte gwa ggoolo 46.
Kyokka Fergie asinze kuwaana Hernandez gwe yagambye nti muzannyi wa njawulo kubanga ebiseera ebisinga abeera ku katebe kyokka bw’afuna omukisa ogutandika ataasa nnyo ttiimu. Kyokka abateebi ba Fergie abaliwo mu kiseera kino balina okukola ennyo kubanga sizoni ya 1988-99 yagenda okuggwa nga balina ggoolo 76. Yorke yali ateebyeko 29, Cole 24, Solskjaer 18, ne Sheringham yali alina ttaano.