Emboozi
Misiri bunkenke
Mu misiri obunkenke bweyongedde nga nsalesale wamaje okuyingira munsonga zabeekalakaasa agenda aggwayo
Okwekalakaasa kukyagenda maaso mu libuga cairo mu kibangirizi kya tahriri square nga abamisiri baagala president mursi alakulira nga bagamba nga mpaawo kyabayambye.
Amajje olunaku lwegulo gaawadde mursi esaawa 48 zokka nga akakanyizza embeera oba sikyo gaakuyingira munsonga zobuyinza mu ggwanga lino.
Kwo okwekalakaasa kuno kulese 16 tebakyaalaya mere yakunsi sso nga nabasinga baagobye dda empanga zaabwe bazeerire olwokubuuka nebisago ebyamaanyi.