Olwali
Ababbi tebggwaako magezi
Ababbi b’ennaku zino bagezi nyo.
Mu kibuga San Diego mu gwanga lya Amerika, omukazi akubye enduulu bwasanze kilo zenjaga 30 mu motoka ye ate nga siyeyazitaddemu.
Nakyaala ono aweza egyobukulu 33, yeewunyzizza oluvanyuma lwomusajja atanategerekeka okutandika okwepakulira ku motoka ye nga bwajjamu enjaga ate nga baabuwe ye yabdde mpaawo kyajimanyiko.
Ono yakubye enduulu eyasombodd e nabapolice abaasose okumunyweza , nga basuubira nti yabadde alina kyaamanyi kunjaga eno.
Mukazi wattu yeewozezaako nga bweyaanze essaja eryaabadde lyepakulira enjaga wansi weyabadde agisimbye, olwamulabye neriduka.
Ababbi bakozesa nyo obukodyo bwokukweka enjaga mu motoka zabanatu nga tebamanyi nebajiyisa kunsalo ya mexico okuyingira amerika nga , nanayini motoka nebwakwatibwa bbo baba wabweeru waakyo.