Olwali
Abalongo ba mirundi 10 mu kibiina kimu
Wali olabyeeko abantu abafagana nga kizibu nnyo okubaawula.
Kubamu akafanyi ng’oli musomesa ng’olina emigogo gy’abalongo ng’ena mu kibiina ky’osomesa, osobola okubawuula?
Kati nno omusomesa mu ggwanga lya China yye abivuddeko olw’ekibiina ky’asomesa okubaamu emigogo gy’abalongo 10.
Bano baweza abaana 20 ku bayizi 22 b’alina mu kibiina Abaana bano bafanagana okufaako obufi nga tasobola kubwuula
Omukyala ono agambye nti tasobola kugoberera nkola ya baana bano nga kizibu n’okubonereza abamu oluusi kubanga aba tamanyi wakutuukirako
Eby’embi nti abaana bano bonna bambala yunifoomu yeemu ekyongera okumutabula.
Ono agamba ntiu kati yasazeewo kukwata nneyisa na mbeera zaabwe oba olyaawo lw’anasobola okubaawula