Olwali

Abanja za ssaala ze

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

South Africa

Waliwo omusajja enzaalwa ya South Africa akubye kkampuni y’amasanyalaze mu mbuga z’amateeka ng’alumiriza nti essaala ze zeezalemezaako amasanyaalaze mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ezaali mu ggwanga lino mu mwaka 2010.

Omusajja ono ayagala aba Eskom ababunya amasanyalaze mu South Africa bamusasule obukadde 250 olw’essaala ze ng’amasanyalaze tegavaako yadde olunaku olumu.

Ono agambye nti amasanyalaze gaali gavaako nnyo mu biseera ebyo kyokka okuva lweyatandika okusaba tewali yadde olunaku olumu lwebabeerako mu kibululu mu biseera ebyo.