Olwali
Amukubye akakondo ku mutwe
Omukazi amazeeko abantu ebyewungula bweyayambudde akakondo n‘akakompola omusajja abadde amukwana mu mutwe.
Abantu ababadde mu ka restorant beebarabye ng’akagatto kabayitako ekikumi nekatuukira ku musajja ssabakwanyi
Akagatto kano kakutte omusajja n’ayiika omusaayi.
Omukyala ono olumaze akimye bulungi akagatto ke n’akambala olwo n’atambula neyeyongerayo
Biri Bungereza