Olwali
Asaze amasanvu n’awangula empaka
Omukyala eyali yagejja yenna ng’awedde ku mpagala awulidde empaka z’obwannalulungi n’atabukira gymn okukakkana ng’aziwangudde
Omukyala ono ow’emyaka 31 asoose kwesonyiwa bisiike olwo n’ayingira abavuganya era yayingiddewo bulungi mu kagoye akawungirwaamu enduulu n’eraya
Yatandika okwekozza mu mwaka gwa 2011 nga takyamala galya era nga abadde alya bibala, bivavava n’enyama etaliimu masavu
Mukyala ono asanyudde ababadde balamula empaka zino era nebamuwa ekirabo kya ba maama abatambula n’omulembe
Omukyala ono ne bba ow’emyaka 40 balina abaana babiri