Olwali
Bano gubatikkidde mu yafeesi
Mu ggwanga lya Italy, omulamuzi abadde awulira omusango aguyimirizza bw’alengedde abagalana babiri nga bali mu kigwo gwa mukwano okuliraana kkooti gy’abadde akubiriza.
Omulamuzi ono Anna Ivaldi asabye munnamateeka w’oludda oluwaabi abadde ayogera okusooka okuyimiriza kubanga abadde awulira amaloboozi agatategereka.
Omulamuzi ono atambuzizza amaaso era agasudde ku bagalana mu kasonda nga zazze dda okunywa.
Abagalana bano bagambye nti babadde balowooza nti endabirwamu zikutte teri abalaba era nga bano bombo babadde bakoze mu kitongole ekiramuzi
Ekyewunyisa nti omu ku bano mufumbo.