Emizannyo
Diifiiiri akiguddeko
Bwoba omanyi nti oli diifiri wa mupiira nga omupiira ogufuuwa matankane, weegendereze.
Mu Indonesia omuzanyi womupiira akubye diifiri namujjamu erinyo lwakugaba penati mungeri yamncoolo.
Pieter Rumaropen, yaakubye diifiri Wasit Muhaimin enguumi olwobusungu lwakugaba penati era tiimu ye newangulwa.
Wabula ref naye tanywa guteeka, asoose kuwa muzanyi ono kaadi emyufu olwo nalowooza kukyokukwaata ku mumwa nga yenna abadde atiirika musaasyi.
Ekibiina ekifuga omupiira mu gwanga lino omuzanyi ono kimuweze obutaddamu kukoona ku mupiira.
Abazanyi bomupiira enaku zino balina emize egyitategeerekeka nga ne luis suarez omupiira gwaaganye naluma munne owa Chelsea Ivanovic katono amujeko ekifi.