Olwali
Ebyana byasazeeko David Beckham mu kalango
MARBELLA
(Omupiira)
Abawagizi b’omupiira bagamba nti David Beckham ye muzannyi w’omupiira asinga okwettanirwa mu buli kanyomero ka nsi. Ku wiikendi Beckham yabadde ku kizinga ky’e Marbella mu Spain ng’akolera kkampuni ya Adidas akalango kyokka byana biwala byabadde bimwebulunguludde ng’oyinza okulowooza nti yabadde agaba ssente.
Mu kalango kano, Beckham yabadde alanga ngatto za Adidas empya era yazambadde n’atandika okudduka ku nguudo z’omukibuga kino nga buli muntu amutaddeko abiri. beckham yatandika okwambala n’okulangira Adidas mu 2003, era y’akola nga munnabyamizannyo gwe basinga okukozesa mu kubalangira.