Olwali
Embwa esitula omwenge
Abagaazi b’omwenge gyebali nga bbo bayiiya engeri yonna gyebayinza okugufunamu ate nga tebatawaanye
Kati mu Australia, omusajja ayigirizza embwa ye engeri y’okumuwereeza omwenge okuva mu firiigi
Josh embwa eno agiyigirizza nga buli lw’ayogera nti awulira enyonta, ng’embwa eno edduka eggulawo firiigi, n’ejjayo eccupa ya bbiya ng’ekozesa amannyo
Omusajja ono agamba nti buli lw’alaba embwa ye ng’emuwereeza, ng’essanyu libula okumutta.