Olwali
Enyonyi eggula bbiya
Abanywi ba bbiya bangi bwebamufuna banoonya kaggulawo eccupa ate abangu bakozesa mannyo.
Naye obadde okimanyi nti engeri nyingi nnyo z’oyinza okuggulamu bbbiya ono
Mu ggwanga lya China, abagoba b’enyonyi bategekeddwa okukozesa ennyonyi zaabwe okuggula amacupa g’omwenge
Abagoba bano baweebwa eddaakiika munaana okukozesa opena essibwa ku nyonyi zaabwe wansi okuggula eccupa za bbiya
Akazannyo kano kaleeteddwa kupima bukugu abagoba bwebalina mu kubeera mu bbanga okumala ebbanga eddene nga tebatambula kyokka ng’enyonyi tegudde wansi.