Olwali
Omugole abuze
Tuyingira mu nnaku za wiikendi era mu nnaku zino embaga zibeera nyingi.
Kati gwe omugole omukazi kubamu akafananyi nga bbaawo talabiseeko ku mukolo olw’omwenge gweyanywedde n’agangayira
Enkeera ejja yetonda wandikoze ki,
Mu ggwanga lya Australia omusajja ow’ekika kino alwaana kufuna kisonyiwo okuva eri mukyala we
Jacob Francis agambye nti teyagenderedde kugangayira nga yanyweddeyo obucupa busatu bwokka kyokka nga kyamuweddeko abasirikale okumukwata nti yabadde atamidde.
Omusajja ono asiiba yewuuba ku mukazi we kyokka nga naye alayidde nti taddamu kuswazibwa.