Olwali
Omukazi yerabidde omwana we olw’akaboozi
Waliwo omukyala kasobeza eyerabidde omwana we ow’emyezi esatu n’afa ng’obuzibu bwonna kaboozi
Omukyala ono abadde asitudde omwana ng’amutwala mu ddwaliro omusajja amusigudde n’amulesaawo omwana amusanze ku siteegi webalindira baasi.
Ono aleseewo omwana n’agenda n’omusajja ono mu nju ye okumala essaawa mwenda era agenze okudda nga bebi w’amulese afudde
Omukyala ono bw’asimbiddwa mu kkooti akkirizza emisang nga kati asibiddwa emyezi munaana.