Emboozi
Ekiwaani ky’enviiri kibizadde
Omukyala eyasaze olukujjukujju omwana we n’awangula empaka z’enviiri ali mu kattu
Mpaka z’abadde z’ani asinza enviiri ezirabika obulungi era omukyala ono Sohila teyabiruddemu n’agula ki wiigi.
Yakyambazza omwana we eyali yakutuka enviiri bw’atyo n’awangula.
Abantu abaalabye omwana ono ow’emyezi ekkumi nga nyina amuyingiza mu kizimbe omwabadde empaka beebekengedde bwebatyo nebajulira
Omukyala ono wabula yetonze n’ategeeza nga bweyakikoze okusanyusa muwala we naye kenyini okusanyukamu