Olwali
Omupoliisi atabukidde ow’emmotoka
Abakulu mu poliisi ya China basabiddwa obutagoba mupoliisi eyalabiddwaako mu bifananyi nga yeeyambudde essaati okulwanagana n’omugoba w’emmotoka.
Jiang Hu akwatiddwa ku lutambi nga yeezoba n’omusajja gweyawadde tikiti ya paakingi kyokka n’agaana okusasula
Mu mbeera ng’eno wandisuubidde abantu okunyiiga kyokka ng’abantu bano kati basaba nti omupoliisi ono asonyiyibwe
Bangi bagamba nti waliwo abamucookozezza era nga tasobola kuva mu mbeera nga tewali nsonga.
Omupoliisi eyogerwaako yawummuziddwa dda ku mulimu