Olwali

Omusajja alobedde ku mukyala abazigu nebakyekola

Ali Mivule

July 11th, 2013

No comments

man stares at woman

Waliwo obuboozi obunyuma okuwulira naye nekano kewunyisa.

Abazigu mu ggwanga lya Amerika babbye omusajja obutamulekera kantu mu nyumba bw’abadde asamaaliridde ku kabiite we abadde akuba eddubi mu kidiba kyaabwe eky’awaka.

Gyooli tasula naye, musajja mukulu ono aweddemu nga atunulira embooko ye ebadde esuddemu obugoye obuwugirwamu .

Ono yeekanze police etuuse ewuwe  oluvanyuma lw’omu ku babbi okukoona ku alarm mubutanwa .

Wabula batuuse enyumba nkalu nga n’ababbi bamazeemu omusubi.