Olwali
Omusiguze aluguddemu
Omusajja abadde yeebase ne mukyala we mu kitanda kimuweddeko, musajja mune bw’ayingiddewo okukola emirimu gye
Omusajja ono asoose kulaba kisiikirize era mu mpola n’akubira poliisi essimu okugitegeeza nti omubbi abalumbye
Wabula poliisi bw’ekutte omusajja ono agitegeezezza nga bw’atali mubbi wabula abadde azze kulaba ku muganzi we kubanga abadde tamanyi nti bba gyali
Poliisi etuuzizza abasajja bano bombi kyokka nga ekisinze okuluma omusajja ono nti n’okuyita poliisi abadde ataasa mukyala we ne famire.
Abafumbo bano abasangibwa mu ggwanga lya Italy baawukanye