Olwali
Omwenge banaaba munaabe
Mu ggwanga lya Czech Republic abasajja banditandika okuwerekera bakyala baabwe nga bagenda okwewaamu
Kino kiddiridde wooteri emu okusaawo ekibaafu mwebawummulira nga kikubyeeko omwenge.
Abaddukanya wooteri eno bagamba nti babadde balowooza nti abanakozesa ekibaafu kino bajja kukivaamu nga basanyufu kyokka nga abakakibeeramu banywa nebagangayira nebakiremera namu.
Abaddukanya woteeri bagamba nti omuntu agenda mu kibaafu kino aggwaako ebirowoozi, emisuwa gye gita era nga n’olususu lwe lutereera nelukirako olwa Bbebi.