Olwali
Omwenge gwa Kkapa guzze
Abantu bangi badda ewaka nga bakooye n’akajjamu negabula era n’ekikoowukoowu bagwa eri ng’ekiyinza okubakkakkanya kunywaamu.
Gujabagira ssinga omuntu abeera muwuulu nga ky’alina mu nju by’ebisolo omuli kkapa oba embwa naye nga tasobola kunywa nabyo kugabana ku bukoowu
Kino ssikyakubaawo kati ng’abasogozi b’omwenge bakoze ogunyweebwa kkapa
Omwenge guno guli mu ggwanga lya China nga gukolebwa kkampuni ya Band H lifes gugula yen bbiri n’ekitundu
Bano basoose kukolako eccupa 1000 okugezesa kyokka nga bu kkapa obwakanywaako bwalabiddwaako nga bwekomba