Olwali
Ono anywedde muka
Abakyakaze bangi obasanga ekiro nga beepena poliisi olw’ensonga nti baba bayiyeemu ku twenge
Abantu okuvuga nga batamidde tekiri Uganda wokka nga mu ggwanga lya America, waliwo gwebakutte nga gw’anywedde gwo muzibu.
Omuvubuka ono Carter alemeredde n’okufuuwa mu kawunyemu nga tasobola kusika mukka
Abapoliisi basazeewo okupima omwenge oguli mu musaayi gwe kyokka ng’akuuma kagaanye okukola kubanga gubadde mungi nnyo
Ono bwebagezezzaako okwogera naye, atandise okwogera ebitakwatagana ate ng’abadde takyasobola kuyimirira era bw’etyo poliisi emuggalidde okutuusa lw’anaddamu akategeera