Olwali
Ono kimuweddeko
Omukyala eyafiirwaako mwanyina ebigambo bimuweddeko bw’asanze omusajja omulala ng’alina feesi y’ey’omugenzi
Richard Norris ow’ewaka 39 feesi ye kumpi yaggwaawo bweyekuba amasasi mu butanwa mu mwaka gwa 1997 kyokka n’aweebwa feesi endala ey’omusajja eyali afiiridde mu kabenje
Omukyala ono olulengedde omusajja ono asoose kusooka kuwakana ng’alowooza alabye muzimu kyokka okumusemberera n’amukwatako akakasizza nti ddala mulamu.
Omukyala ono oluvanyuma omusajja ono gw’atamanyi amutegeezezza gyebyava nga kati ba mukwano kubanga mujjukiza mwanyina.