Emboozi
Temweyibaala temuli baakitalo nnyo, Mikel owa Nigeria abogodde
LWAMUKAAGA
Ghana ne Cape Verde
South Africa ne Mali
SSANDE
Ivory Coast ne Nigeria
Burkina Faso ne Togo
KAMPALA
Ttiimu musanvu ku munaana ezisigadde mu kikopo kya 2013 Orange Africa Nations Cup, musanvu zonna ziva mu West Africa nga ku zino mukaaga zikwatagana mu luzannya lwa ‘Quarter Final’ wiikendi eno.
Naye ku mipiira egyo esatu ogwa Ivory Coast ne Nigeria ogujja okubaawo ku Ssande gwogeza abantu obwama.
Ivory Coast yeesongeddwamu olunwe okuwangula omupiira guno naye ekyo te kigaanyi musambi John Obi Mikel omuwuwutanyi wa ttiimu ya Super Eagles okuvaayo n’ayogera nti, “ Tumanyi Ivory Coast batusingako naye tebeeyibaala, si baakitalo nnyo. Tuyinza okubasuula ettale. Twali tulabye ku ttiimu ezisinga eyo naye neziwangulwa.”
Mikel yagenze mu maaso n’agamba nti, “ Okuzannya Ivory Coast kigenda kuba kikalubo naye nze neesunga okusisinkana mukwano gwanga Didier Drogba. Omupiira gwokusirisizaawo temuba muzannyo ate tegubaako kumanya.”
Ttiimu zombi zaakasisinkana emirundi etaano nga Ivory Coast erina enkizo, kubanga yaakawangulako emirundi ebiri ate Nigeria gumu, emirala balemaganye.
Emirundi gyebaakasemba okuzannya gyombi Ivory Coast yagiwangula. Mu luzannya oluddirira olwakamaririzo (semi-final) e Egypt mu kikopo kya 2006, Ivory Coast yawangula ggoolo 1-0 ne Ghana mu gw’ekibinja ggoolo 1-0 e Ghana 2008.
Yo Ghana eyaakawangula ekikopo kino enfunda nnya be basooka mu nsiike nga bazannya Cape Verde abagole olwo South Africa bazannye Mali. Burkina Faso abaawandula Zambia ababadde n’ekikopo bazannya Togo edduumirwa Emmanuel Adebayor.
Ggoolo ezaakateebwa mu kikopo kya Africa
Omuzannyi Ttiimu Ggoolo
Alain Traoré Burkina Faso 3
Emmanuel Emenike Nigeria 2
Yao Gervinho Ivory coast 2
Dieumerci Mbokani DR Congo 2
Victor Moses Nigeria 2
Siyabonga Sangweni South Africa 2
Yaya Touré Ivory Coast 2
January 21, 2008 Nigeria 0 – 1 Ivory Coast
February 07, 2006 Nigeria 0 – 1 Ivory Coast
Burkina Faso v Togo
August 15, 2012, Togo 0 – 3 Burkina Faso
November 2, 2009 Burkina Faso1 – 1 Togo
May 29, 2005 Togo1 – 0 Burkina Faso
Kkaadi ezaakagabibwa
Omuzannyi Ttiimu Eyakyenvu Emmyufu
Sisay Bancha Ethiopia 1 1
Efetobore Ambrose Nigeria 1 1
Jemal Tassew Ethiopia 0 1
Abdoulaye Soulama Burkina Faso 0 1
Younès Belhanda Morocco 2 0
Mamadou Samassa Mali 2 0
Mohamed Soumaïla Niger 2 0
Calvin. Ngcongca South Africa 2 0
Fegor Ogude Nigeria 2 0
Joseph Musonda Zambia 2 0
Wakaso Mubarak Ghana 2 0
Kkaadi za Kyenvu ezaakagabibwa mu mipiira 24 ziri 114 n’emmyufu nnya.
fmusisi@ug.nationmedia.com