Bya Ivan Ssenabulya
Ebyokuteesa mu palamenti bisanyaladde akawungeezi ka leero, ngomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa leero, okutukira ddala olwenkya ku ssaawa 8.
Ebyokuteesa ku kiteeso kyomubaka wa Igara West Raphaeal Magyezi kubadde kuzeemu, ababaka ate kwekutabanguka.
Ababaka bayimbye oluyimba lwe gwanga nga kitutte ebbanga, nga tebasirika, Kadaga akanyizza kubayita nga wa.
Mu kusooka lyabadde bbugumu, babaka bwebatanudde okulwana nokwekasukira obutebe, waddenga embeera yamaze nedda mu nteeko, nebateesa ku biralal.
Mungeri yeemu omubaka we Kawempe, Mubarrack Munyagwa, ayimuse nalopera Kadaga nga’gamba nti nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa yayambadde bubi.
Ono agambye nti Nankabirwa abadde maucnkanlanya, mbu amabeere ge gonna gabadde gayita bweru.
Kino spiika akivumiriidde, nti ababaka balina okwambala obulungi.