Ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda, kyekimu kwebyo omuli abayimbi abenjawulo era abasanyusa, era abewaddeyo okuyitimusa okuyimba okutuuka mu Africa wonna.
Mu mboozi eno, tutunuliidde abamu ku bayimbi emunyenye mu Uganda olwa talanta gyebalina nebyo byebayiseemu okubaako webatuuka.
...Grace Nakimera
Waliwo bingi ebibogerwako ebinyuma, okugeza ng’ebya Grace Nakimera. Ono munnaYuganda, yatandika okuyimba ku myaka 7 era okuva olwo taddanga mabega.
Nakimera…

Bya Lukeman Mutesasira
Omuwuwutanyi wa tiimu y'egwanga, the Uganda cranes Khalid Aucho yetondedde egwanga n'ekibiina ekitwaala omuzanyo gw'omupiira mu gwanga ekya FUFA olw’okusiwuuka empisa ekyamuviirako okugobwa mu nkambi.
Aucho okugobwa kyadirira okugaana entambula eyasindikibwa okumunona ku kisaawe Entebbe, okumutwala mu nkambi e Kisaasi, gyebasula.
Akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yavaayo nategeeza nti ensoonga za Khalid Aucho…
Bya Kyeyune moses
Olunaku olwaleero Parliament esiimye banabyamizanyo ba Uganda abagenda okukiika mu mpaKa z'amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza okukakana nga batuweesezza ekitiibwa.
Bano webaviirideyo nga omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni yakamala okukyaza bano e Ntebe naasiima kyebaakolera egwanga.
Ekiteeso ekisiima bano kireteddwa omubaka we Ajuri Hamson Obua nekisembebwa omubaka we Bukedea Annita Among.
Mukwogera omubaka Obua agambye nti…
Bya Samuel Ssebuliba.
Wetwogerera nga banabyamizanyo ba Uganda abaatukikira mu mpaka ez’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza bataka mu Uganda oluvanyuma lw’okuwangula emidaali mukaaga mu mpaka zino.
Bano mukutuuka baniriziddwa minister akola ku by'enjigiriza n'emizanyo Janet Kataha Museveni, nga ono obwedda ali ku kisaawe E ntebe abalinze.
Nga abakatuuka omu kubawangudde emidaali nga ono ye Josua Kiptegei ategeezeza…

File Photo: Abauganda nga baali mukisawe e'Namboole
Ba difiri okuva mu ggwanga lya Guinea balondeddwa okulamula omupiira wakati wa Uganda ne Togo olunaku lw’enkya
Keita Yakuba y’agenda okulamula ayambibweeko Dumbuya Abubakan ne Raffi Abdel.
Yoomu tiimu ya Uganda esitudde okwolekera Togo nga ku bano kuliko Denis Onyango, Robert Odongkara, Isaac Isinde, Geoffrey Massa ne Caesar Okhuti.
Akulira ekibiina kya FIFA Sepp Blatter obubaka bwe bwetoololodde ku bumu ng’okulonda omukulembeze omuggya kugenda mu maaso.
Okuonda kuno kujjidde wakati mu kunonyereza ku nguzi efumbekedde ekibiina kya FIFA nga waliwo n’abakwatibw agyebuvuddeko
Blatter asuubirwa okulya ekisanja ky’okutaano asabye abantu okuba obumu okusobola okutwaala omuzannyo gw’omupiira mu maaso.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akubidde enkambi ya Uganda Cranes essimu e Morocco era n’abazzamu amaanyi.
pulezidenti awadde omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic ku bukodyo bw’okuwangula omupiira gwebagenda okuzannya n’eggwanga lya Guinea olunaku olwenkya era n'abawa amagezi obutazanyira ku puleesa okusobola okumegga Guinea.
Yye kapiteeni wa Cranes Andy Mwesigwa ategezezza nga bwebagenda okufiirawo okumegga Guinea okusobola okwesogga empaka za…
Eggwanga lya Equatorial Guinea ligobeddwa mu kusunsulamu abanetaba mu mpaka za Africa eza 2015 lwakuzanyisa muzanyi atali munansi.
Bano baawandulamu eggwanga lya Mauritania ku mugatte gwa ggoolo 3-1 mu luzanya olwayita wabula nebabawawabira lwakuzanyisa Thierry Fidjeu Tazemeta enzalwa ya Cameroon.
Kati kino kitegeeza Uganda yakuzanya Mauritania ku luzanya oluddako nga 19 July wano mu Kampala mu mupiira…
Abakubi b’engumi abawerera ddala 26 beebesozze enkambi okutendeka nga betegekera ogw’omukwaano ne Kenya nga 31 omwezi guno
Enzanya zakubeera Lugogo
Omwogezi w’ekibiina ky’omuzannyo gw’ebikonde, Fred Kavuma agamba nti bategese empaka zino nga beetegekera empka za common wealth games mu mwezi gw’omusanvu
Akulira tiimu ya Arsenal, Arsene Wenger agamba nti musanyufu nti basobodde okukakasa ensi nti bakyalimu ssupu.
Kino kiddiridde Arsenal okukuba Liverpool goolo 2 nga yyo eyanjala ngalo
Wenger agambye nti bagenze okuzannya nga bamaliridde oluvanyuma lw’okuwangulwa emirundi ebiri nga bali waka.
Wenger agamba nti ate kyamusnayudde nyo nti bawangudde ne goolo entangaavu nga tewalikubuusabuusa tegwabadde mukisa wabula bumanyirivu.