Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobusuubuzi

Bannamakolero basomozeddwa okukuuma omutindo

Bya Juliet Nalwooga Bannamakolero basabiddwa okukola emirimu gyabwe n’obukugu, ebyamaguzi byabwe bwebinaaba byakuvuganya ku katale kensi yonna. Bwabadde ayogerera mu musomo gwabannamakolero mu Kampala ssenkulu w’ekibiina omwegatira bannamakolero mu gwanga ekya Uganda Manufacturers Association (UMA), nga ye Daniel Birungi asomoozza bannamakolero okwolesa obukugu nómutindo mu byebakola byonna banguyirwe okubifunira akatale. Bannamakolero abali mu 1,500 abegattira mu UMA basabiddwa…

Read More

Abantu 3 bawangudde emmotoka za MTN Momo Waaka Promotion

Bya Moses Ndaye, Omutuuze w’eMasaka ajaganya ng'akimezezza okwenjala, bwawangudde emmotoka ya MTN-Uganda mu mugano gwa MTN Momo Waaka Promotoin. Edith Tusiime omutuuze w’eMasaka yoomu ku bantu 3 abakwangula emmotoka kika kya Toyota Succeed, mu kannyo kano nga byonna byabaddewo mu kalulu akakubiddwa akawungeezi k’eggulo. Abalala kubadde Agness Naluwooza omutuuze we Namagunga Mukono ne Muzamir Wasswa we Nansana mu…

Read More

Mwettanire Mobile Money Muby’ensimbi

Mwettanire Mobile Money Muby’ensimbi Bya Moses Ndhaye Emikutu gyeby’empuliziganya gigamba nti waliwo obwetaavu abantu okwongera okumanya obukulu bw’okutabuza ssente mu nkola eza Mobile Money, era bazettanire. Kino bagamba nti kigenda kwongera obuwereza bwa ssente okubuna mu bantu ate kiyitimuse n’ebyenfuna. Okusinziira ku Territory Manager ku Mtn-Uganda Ali Lubowa, abantu ssinga banettanira obuwereza bwa mobile money kigenda kwongera neku nnonno…

Read More

Obuyiiya mu kutereka ssente bubuno ‘WhatsApp Banking’

Bya Juliet Nalwooga BannaYuganda basabiddwa okwettanira enkola eya whatsapp bankin, obuyiiya obujja obwaleteddwa mu byokutereka ssente okuyita ku mitimbagano. Sarit Raja, akulira ebyensimbi n’emirimu mu kampuni ya I&M mu kitundu kyobuvanjuba bwa Africa, agambye nti kitundu kyomwaka 2021 eisoose wabaddewo okweyongera mu magoba okutuuka ku 33% okuva ku 12%. Raja era awabudde bonna abali mu mulimu gwokutereka ssente,…

Read More

Abasubuzi balajana egwanga obutalizaayo mu muggalo

Bya Ndhaye Moses Abaddukanya zzi business entonotono basabye gavumenti obutazaayo gwanga mu muggalo guli omukambwe, ngogwaliwo omwaka oguwedde. Bano bagamba nti waddenga emiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe gyongedde okulinnya, kinaaba kibi nnyo eri ebyenfuna okusiba abantu bonna obutakola. Wetwogerera ngomukulembeze we’gwanga yaggala entambula eyolukale okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala. Wabula ssnekulu wa Federation of small and medium…

Read More

Okubala ebisolo kutandise olwaleero

Bya Ivan Ssenabulya Ekitongole kyebibalo mu gwanga, Uganda Bureau of Statistics olwaleero bagenda kutandika okubala amagana, okwetoloola egwanga lyonna. Kati aba UBOS bakolaganye ne minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi mu ntekateeka eno, okusobola okukakasa omuwendo gwabyo omutuufu okubitegekera nokubiddukanya obulungi. Okusinziira ku Edgar Mbahamiza, akulira ebyamawulire mu UBOS agambye nti okubala kwakukegenda mu maaso kukomekerezebwe nga 4 omwezi ogwomukaaga. Ku…

Read More

BCU baakutondawo ebifo webakunganyiriza emwanyi

Bya Musasi Waffe Bugisu Cooperative Union (BCU) bakutnadika okutondawo ebifo, mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo, webakunganyiza emwanyi. Kino kigendereddwamu okwongera amaanyi mu mirimu gyabwe, nokutaasa abalimi ababaddde babbibwa ba kayungirizi. Kino kyatukiddwako mu ttabameruka wekibiina kyonbwegassi kino, eyatudde mu Industrial City Division mu kibuga e Mbale. Ebifo bino ziyite zi ofiisi zekibiina bagambye nti zigenda kutekebwa e Sironko valley,…

Read More

Tekinologiya yetagisa okulondoola aba zaala

Bya Prosy Kisakye Ekitongole ekirondsoola emizannyo gya zaala mu gwanga, National Gaming Board Uganda bagamba nti betaaga obuwumbi 6 nobukadde 400 okulondoola amakampuni, nebibanda bya zaala engeri gyebakolamu emirimu. Bano bagamba nti abamu balangirira ebibakatako ebikyamu, okusobola okuwa omusolo omutono eri gavumenti. Kati akaulira ekitongole kino, Janet Namuli alabiseeko eri akakiiko ka palamenti akebyensimbi nategeeza nti betaaga okwongerwa ku nsimbi…

Read More

Abasawo b’ebisolo bagala minisitule bagyawule

Bya Ndaye Moses Abasawo b’ebisolo basabye gavumenti eddemu, okutereeza minisitule yebyobulimi okuzawula, zisobole okwetngererea nokukola obulungi emirimu. Mu mwaka gwa 1993 olukiiko lwaba minisita lwayisa ekiteeso okugatta minisitule yebyobulimi, ku yobulunzi nobuvubi, awamu. Wabula abadde pulezidenti wa Uganda Veterinary association Dr. Sylvia Baluka agambye nti basanze okusomozebwa kwamaanyi, olwa minisitule zino okubeera wamu. Asabye gavumenti kino eddemu okukyetegereza.

Read More

Entalo z’ebisolo n’abantu zeeyongedde

Bya Juliet Nalwooga Ekitongole ekirera obutonde bwomu ttale, Uganda Wildlife Authority (UWA) kitegezezza nti obukubagano wakati wabantu nobutonde bomu ttale, bweyongedde 50%. Bwabadde ayogerera mu lukiiko olutudde olwabakwatibwako mu Kampala kungeri yokussa mu nkola etteeka eppya erya Community Conservation Policy 2019, ssenkulu wa UWA, Sam Mwondha agambye nti emisango 4,257 gyebafuna mu 2019 nga waliwo okweyongera bwogerageranya…

Read More