Bya Prosy Kisakye
Abasubuzi bamata wansi wekibiina ekibagatta ekya Livestock Development Forum, bavumiridde gavumenti, olwokuleka abasiga nsimbi okusaalawo ebbeyi yamata mu gwanga.
Ssentebbe wekibiina kino Ben Twine agambye nti embeera eno, ebaviriddeko okukoleranga mu kufiirwa.
Ono agambye nti kampuni 11 zezilongoosa amata mu gwanga, wabulanga tebateesa ku bbeyi gyebagulamu amata okuva ku balunzi.
Bano bakubidde gavumenti omulanga nti kyekiseera…
