Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobusuubuzi

Babakutte lw’akutunda ddagala lyabirime effu

Bya Sadat Mbogo Abantu 2 bebakwatiddwa mu bitundu by'e Mpigi nga basangiddwa nga batunda eddagala ly'ebirime erijingirire. Abakwatiddwa kuliko Alex Mugisha ne Justine Nannyonga nga kati bakuumibwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikulembeddwa ab'ekitongole ekirondoola omutindo gw'eddagala ly'ebirime okuva mu Ministry y'ebyobulimi, obuvubi n'obulunzi. Akulembeddemu ekikwekweto kino, Isaac Wamasembe agambye nti ebikwekweto bino byatandise…

Read More

Butuluuki yakuwagira Uganda mu sayaansi ne technologia

Bya Prossy Kisakye, Omubaka wa Butuluuki mu Uganda Fikret Kerem asabye bannayuganda okwongera okwettanira entekateeka za sayaansi ne tekinologiya nga kino ky’ekiyinza okuyambako abayizi okuvaayo ne bippya ebiyinza okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu ggwanga. Bino ya byogeredde ku ttendekero lya Basiraamu erya Islamic university in Uganda mu Kampala bweyabadde atongoza essomo eppya erimanyiddwa nga 3D Modelling…

Read More

Abakozesa balabuddwa ku yinsuwa y’ebyobulamu

Bya Shamim Nateebwa Abakozesa abanebalama okusasulira abakozi baabwe ensimbi eza yinsuwa yebyobulamu eye gwanga baakusasulanga engasi, nga bazikubisizaamu emirundi ebiri. Olukiiko lwaba minister gyebuvuddeko lwayisa ebbago erya National Health Insurance Scheme Bill eryomwaka 2019, ngesaaw ayonna ligenda kuletebwa mu palamenti okutesebwako. Muno buli mukozi owemyaka n’okudda waggulu wakusasulanga 1% ku musaala gwe. Bwebabadde banjulira banamwulire ebbago lino, mu nisisnkano…

Read More

Olunnaku lw’obwegassi lutuuse

Bya Benjamin Jumbe BannayUganda basabiddwa obutasulirira bwegassi lwebanasobola okutuuka ewala. Omulanga guno gukubiddwa minister ow'ebyobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde, wakati mu kwetegekra aolunnaku lwebibiina byobwegassi, olunakwatibwa nga 7th July 2019. Bino abigetegezza banamawulire ku meadia Center wano mu Kampala, ngagambye nti mu gwanga mulimu ebibiina omutwalo 1 mu 9,700 wabulanga okusomozebwa kwebasanga kwetoloolera ku byabukulembeze, no’kubulankanya kwensimbi. Wabula Kyambadde…

Read More

Bannannyi mayumba e kawempe bakukulumye

Bya Prossy Kisakye, Bannanyini mayumba mu division ye kawempe si bamatiivu eri olukiiko olwayitiidwa abadukanya ekibiga aba Kampala capital city authority okubaganya ebirowoozo kubutakanya kumusolo gw'amayumba ogumanyidwa nga property rate tax. Bano mu kwogerako ne radio eno bategezezza nga olukugaana bwerwabadde olw’okutema empenda kubutya bwe bayiza okumalawo obutakanya ku musolo guno wabula abakulembeze ne baluyingizamu ebyobufuzi. Wano…

Read More

Abwakabaka butadde amaanyi mu bwegassi

Bya Shamim Nateebwa Abakulembeze b’obutale bwa Ssaabasajja Kabaka basisinkanye ninisita ow’obwegassi, ettaka, obulimi n’obutonde bwensi, Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo n’omumyuka we Hajji Amis Kakomo ku Bulange e Mengo. Ebismbiddwako amannyo mu nsisinkanye eno, ebadde egenderedde okussaawo ebibiina by’obwegassi mu bantu naddala abakolera mu butale. Owek. Mariam agambye nti tewali ngeri yonna gyoyinza kutwala mulimu gwonna mu bantu nga…

Read More

NSSF erabudde ku kwanguwa okujjayo ssente

Bya Ndaye Moses Ekitavvu kyabakozi ekya National social security fund kisabye, abakozi okwewalanga okujjayo ensako yaabwe, nga tebasoose kulaga entekateeka nnungi eyokusigamu ensimbi ezobukadde bwabwe. Mu tteeka lya NSSF eppya abakozi basobola okujjayo ensimbi zaabwe ku myaka 45 okwawukana kunkola ebaddewo eyemyaka 55. Wabula managing director wa NSSF Dr. Richard Byarugaba agambye nti waddenga kino kirungi, naye ate…

Read More

Banabyanfuna boogedde ku banka yekisiraamu

Bya Ivan Ssenabulya Banabyanfuna bagumizza abakristaayo, ku kutya kwebalina ku kutereka ssente mu nkola yekisiraamu, oba Islamic banking, egenda okutandika okukozesebwa. Banadiini abataba enzikiriza ezekikristaayo, wansi wa Uganda Joint Christian Council bavaayo okuwakanya enkola eno, nebagamba nti tebajitegeera atenga erabika erubiridde kukwenyakwenya okukyusa bakiriza okubazza mu busiraamu. Kati obubaka obwanukula bano, bwebwatikidde emizkiti ezenjawulo olunnaku lwe ggulo, okuva…

Read More

Abalimi e Bukomansimbi bagala gavumenti ebadukirire n’ensigo

Bya Prossy Kisakye Abatuuze ku byalo 5 mu district y’eBukomansimbi bakubidde gavument omulanga ebadukirire ebawe ensigo oluvanyuma lw’okugya nga basiga efunda eziwera naye ebirime byabwe ne bikala olw’enkuba okulwawo okutonya. Ebyalo ebyasinga okukosebwa kuliko Lwemiriti, Mirembe, Bigasa Kasambya ne Makukuulu. Bano bategezeezza nga okuva mu mwezi gw’okubiri babadde basiga buli lwe balaba ku kakuba wabula olumala okubitekayo tedamu…

Read More

Gavumenti evudeyo ku balimi n’ababbi ba Vanilla

Bya Prossy Kisakye Minisitule y’eby’obulimi n’obulunzi etadewo ebiragiro ebikkakali wamu n’engasi eri abalimi ba vanilla kko n’abamubba mu nnimiro. Bino by’asanguzidwa mu lukugaana lw’abamawulire olutuzidwa minisita omubeezi ow’ebyobulimi Christopher kibazanga. Kibazanga agamba bakizudde nti buli ebisale bya vanilla lwe birinya n’abamubba nga beyongera kwossa n’abalimi aba mukungula nga muto ekivirako omutindo gwa vaniila ava mu uganda okuka. Kati gavumenti…

Read More