Bya Lukeman Muteesasira
Sports Club Villa bagenda kutuuza ttabamruka waabwe nga 23 Okitobba, 2021.
Bingi ebibadde byogerwa kungeri Villa gyeremereddwamu okutuuza ttabameruka nokulonda abakulembeze ba tiimu abappya.
Kitegezeddwa nti baakutuula ku Serena Kigo ngabakulu aba waggulu, board of trustees nabatuula ku kakaiiko akalonda oba villa electoral committee bebajja okwetaba mu ttabameruka oyo.
Villa, abakawangula ebikopo bya liigi emirundi 16,…

Bya Ndhaye Moses
Ebbugumu litandise, nga liigi yegwanga eya Star times Uganda Premier League 2021/22 egenda okutandika nga 15 Okitobba 2021.
Kinajjukirwa nti sizoni ewedde tayaggwa, nga nemipiira egyasembayo gysambibw atemuli bawagizi, wabula ku mulundi guno mu bisaawe, mwakuberamu abawagizi abagere.
Bwabade ayogera ne bannamawulire CEO wa FUFA, Decolas Kizza agambye nti abawagizi 200 bebajja okukirza okuyingira munda…
Bya Lukeman Mutesasira
URA FC bawnagudde Coffe United FC, eye Ethiopia 2-1 mu mpaka za CAF Confederations Cup.
Guno gwemupiira ogusoose, nga gubadde ku kisaawe kya St Mary's e Kitende.
Steven Mukwala yategedde URA goolo zombi atenga William Solomon yeyatebedde abagenyi gooli gyebafunye mu mupiira guno.
Omupiira ogwokuddingana gwakuberawo wiiki ejja nga 18 Sebutemba 2021 ku kisaawe kya Bahir…

Bya Ritah Kemigisa
Abaddukanya tiimu ya SC Villa oba Trustees, bongedde ekisanja eri, olukiiko olwa Executive okujira nga bakulembera emyezi 3.
Mu kiwandiiko ekivudde ewssentebbe wolukiiko olwabammemba ba Villa bano bagenda kukulembera nga bwebatekateeka tiimu olwa liigi egenda okutandika nga 15 October.
Bino webijidde nga bano baalagiddwa okuddamu okutegeka okulonda, oluvanyuma lwa kooti enkulu okuyimiriza okulonda okwaliwo nga…

Bya Lukeman Mutesasira
Abaddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga aba FUFA, balangiridde ennaku ezokusambirako semi-finals za 2020/21 Stanbic Uganda Cup nentekateeka egenda okugobererwa.
Empaka zino zakuberawo nga 21 nenkeera waalwo nga 22 Sebutemba 2021, era empiiira gyonna gyakusambibwa omulundi gumu, tewajja kuberawo mupiira ogwokuddingana, nga bwekibaddenga.
Emipiira gyonna gyakusambibwa ku FUFA techinical centre e Njeru.
Police FC bwakubefuka ne Vipers…

Bya Lukeman Mutesasira
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga, Federation of Uganda Football Associations (FUFA) balangiridde tiimu ya Express FC ku bunwaguzi nga ba nantameggwa ba liigi mu sizoni eno eyo’mwaka 2020/21.
Kino kyadiridde gavumenti okulangirira omuggalo gwa COVID-19, omwajidde ebiragiro ebyakosezza nebyemizannyo.
FUFA esinzidde mu nnyingo eye 18 mu mateeka agafuga omuzannyo, ssinga liigi ebeera ezanyiddwa 75% nga…

Bya Lukeman Mutesasira
Kapiteeni wa tiimu y'egwanga the Uganda Cranes Denis Onyango anyuse omupiira ku tiimu y'egwanga.
Onyango yawandikidde ekibiina ekitwala omuzanyo gw'okupiira mu gwanga ekya FUFA ngabategeeza ku kusalwo kwe.
Kino wekijidde nga waliwo okusika omuguwa wakati wa pulezidenti wa FUFA Moses Magogo n'abasambi oluvanyuma lwa Magogo okutegeeza ngabasambi ba Uganda abazanya mu mpaka za Chan bwebasamba…

Bya Lukeman Mutesasira
Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana yegasse mu lwokaano, ku kifo kya Pulezidenti wa FUFA, ekibiina ekiddukany omuzannyo gwomupiira mu gwanga.
Ssewanyana akoze okulangirira kuno mu lukungana lwa banamawulire, lwatuzizza ku wofiisi ye e Makindye.
Bino webijidde nga nabadde mu kifo kino, Eng Moses Magogo yakajja alangirire, ngavuganya ku kisanja kyakusatu.
Ssewanyana mu mwaka gwa 2013,…

Bya Lukeman Mutesasira
Tiimu ye gwanga the Uganda Cranes, eri mu mbeera nnungi era bawera okufuna obuwnaguzi mu mupiira gwa Malawi, eggulo lino.
Kino kikakasiddwa omwogezi wa FUFA, ekibiina ekiddukanya omupiira mu gwanga, Ahmed Hussein.
Uganda yetaaga maliri atenga Malawi erina okuwangula omupiira guno bwenaaba yakuyitawo, okwetaba mu AFCON.

Bya Ritah Kemigisa
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga, FUFA okuyita mu kakiiko akakwasisa empisa basalidde ssentebbe wa tiimu ya Police FC Asan Kasingye engasi ya bukadde 2 nekitundu olwokumenya amateeka gomuzannyo.
Kino kyadiridde Kasinye okuyita ku mitimbagano, nalumiriza ba difiri obwa kyekubiira ku mupiira Vipers gwebabakuba goolo3-2 ogwaliwo nga 19 February.
Kasingye yayita ku twitter nalumiriza nti…