Amawulire agava ku FUFA e Mengo galaga nti akulira ekibiina ky'omupiira kino Lawrence Mulindwa tagenda kwesimbawo mu kulonda okw'okukyuusa obukulembeze okusuubirwa okubaawo nga 31 omwezi gw'omunaana.
Mulindwa eyajja mu bukulembeze w'omupiira mu mwaka gwa 2004 ategeezezza bino eri olukiiko olufuzi mu kafubo akatudde ku FUfa house e Mengo.
Bino webigyidde nga gavumenti eri mu nteekateeka za kulongoosa…
Omutendesi wa tiimu y’eggwanga Micho Mulitin akakasizza nga omuzannyi Godfrey Walusimbi bw’atagenda kukomawo waka kwetaba mu mupiira gw’olwomukaaga.
Walusimbi ono alemereddwa okukwatagana ne tiimu gy’asambira mu Congo
Kati Alex Kakuba ne Joseph Ochaya bebasigaddewo okuzannya mu namba ye mu mupiira wakati wa Uganda cranes ne Liberia
Abaala abatagenda kubaawo kuliko omukwaasi wa goolo Denis Onyango ng’ano alina kaaadi…
Tickets zomupiira gwa Uganda Cranes ne Liberia zakutandika okutundibwa olunaku lwenkya kumakya.
Tickets zino zakutundibwa nusu 12,000 wamu ne 33,000.
Tickets zino zakutundibwa kumasundiro gamafuta aga Shell,Total,Kobil,City Oil ne Gapco.
Awalala kwekuli Hardware world e Ntinda,City shoppers e Mukono ne Basebuguzi and sons e Masaka.
Okusinziira kumwogezi wa Fufa ,Rogers Mulindwa ategezezza nga tewali Tickets zigenda kutundibwa kukisaawe era…
Abayizi ku ttendekero lya Busoga College Mwiri beesuddemu kambayaaya nebeekalakaasa,
Abayizi bano bagamba nti bakooye mbeera embi wmebasomera era nga bagaala abakulembeze b'ettendkero lino bagobwe.
Abayizi bano bakedde bukeezi nebaggala essomero era nga baliko n'ensisinkano gyebabaddeu n'abakulembeze ba municipaali ye Jinja ne RDC.
Bbo abakulembeze b'essomero lino bali mu kafubo n'esuubi nti ebizibu bya bayizi byakukolebwaako
Empaka z’okubaka ez’eggwanga zitandika ssabiiti eno n’enzannya ez’enjawulo.
Emipiira mukaaga gyegigenda okubeera mu kisaawe e Nakivubo.
Empaka zino ku luno zeetabiddwaamu abe Mbarara era nga buli omu b’ataddekoa maaso.
Ekibiina ekitwala omuzannyo gw’okubaka kigamba nti empaka zino mwebagenda okujja abazannyi abanakola tiimu egenda owketaa mu mpaka z’okubaka ku mutendera gwa Africa.
Manchester United esitukidde mu kikopo kya pulemiya bw'ewnagudde omupiira gwaayo ye ne Aston Villa.
Robin Van Persie y'ateebye goolo emaze eggobe mu kibya nga kati yadde liigi ekyagenda mu maaso, omuwnaguzi yategerekese dda.
Guno mulundi gwa 20 nga United ewangula ekikopo kino.
Nga Tiimu y’eggwang eya Uganda cranes ekyagenda mu maaso n’okutendeka, muyizi tasubwa Hamis Kiiza ne Daniel Sserunkuuma ssibakukoona ku kapiira
Bano tebagenda kwegatta ku tiimu kwolekera eggwanga lya Liberia oluvanyuma lw akooki okubasuula ebbali
SSerunkuuma yegasse ku Brian Umony nate atagenda kusamba
Abaddusi abamannya nga Moses Kipsiro, Dorcus Inzikuru,Annet Negesa,n’abalala beebamu ku bagenda okwetaba mu mpaka z’eggwanga ezomwetoololo olunaku lw’enkya e jjinja.
Ekibiina ekiddukanmya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga kigenda kweyambisa empaka zino okulonda tiimu y’eggwanga enetaba mu z’ensi yonna mu Poland.
Empaka zino zigenda kwetabwaamu abantua basoba mu bitaanoera ng’abawanguzi abasatu bakuweebwa nsimbi ezitatuukiriziddwa