Mu mipiira gy’ebika olwaleero, ekika ky’omusu kiwanduddemu abalangira okwesogga oluzannya olusooka oluddirira olwakamalirzo luyite quarter final
Ab’Omusu okuyitawo bawangudde abalangira goolo 3 ku emu mu mupiira ogubadde mu kisaawe e Nakivubo
Omupiira ogwasooka , abalangira bawangula goolo 1 ku bwereere wabul goolo z’omusu zisobodde okuguyisaawo butereevu
Ate ggyo emipiira egyenkya okuli ogw’olugave ne Ngabi ensamba kko n’og’enjovu n’envubu…
