Ebyemizannyo

Tiiimu y’okubaka eri Singapore

Ali Mivule

December 2nd, 2013

No comments

Tiimu y’abakyaala ey’omuzanyo gw’okubaka etuuse mu ggwanga lya Singapore enkya ya leero. Team eno eya She Cranes egenze kwetaba mu mpaka z’amawanga omukaaga eza 6 Nations Netball Cup omuli amawanga nga Ireland,USA,Sri Lanka,Papua Guinea wamu ne Singapore abategesi. Uganda etuuse kikerezi wabula yakuzanya omuzanyo gwaayo […]

Akabenje ku Kisaawe mu Brazil

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akabadde ku kisaawe e Brazil. Ekisaawe kino kimanyiddwa nga Sao Paulo nga kino kyekigenda okubaamu omupiira ogunaggulawo empaka z’ekikopo ky’ensi yonna Omu ku baddukirize abayitiddwa okutaasa abantu agambye nti ekisaawe kino ekiri mu kuzimbibwa okutuukagana n’omutindo wa FIFA kiyiseemu nekibikka […]

Egya CECAFA gitandise leero

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Tiimu ya Uganda cranes olwaeero lwetandika okulwana okwedizza ekikopo kyayo ekya Cecafa nga egulawo ne Amavubi stars aba Rwanda. Uganda eri mu kibinja  C with Rwanda, Sudan and Eritrea. Tiimu 12 zeezivuganya okuwangula emitwalo gya dola 10 egigenda okugabanibwa tiimu esatu ezinanywa mu zinaazo akendo. […]

Okubaka kw’ababaka

Ali Mivule

November 22nd, 2013

No comments

Omukubiriza w’olukiiko lw’egwanga Rebecca Kadaga asuubizza nga gavumenti bw’ekola kyonna ekisoboka okufunira tiimu y’eggwanga ey’okubaka ensimbi ezigenda okubatwala e Singapore. Bano balina okwetaba mu mpaka z’amawanga omukaaga omwezi gujja. Spiika  bino abyogeredde Namboole oluvanyuma lw’okuzanya omupiira ogw’omukwano ne tiimu eno. Tiimu y’eggwanga ewutudde eya babaka […]

Sula Matovu akamirwa bina

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Omuwuwuttanyi wa Uganda Sula Matovu yegasse ku tiimu Hakeni mu Sweden. Matovu abadde agucangira mu Ebil FC eya Iraq atadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu kyokka ng’asuubiziddwa nti yakwongezebwaayo okutuuka ku myaka esatu. Kino kizze ng’omuzanyi omulala Tonny Mawejje asemberedde okwegatta ku tiimu ya […]

Uganda yakukwata Rwanda

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Uganda yakuggulawo empaka za CECAFA ne Rwanda ng’ennaku z’omwezi 23 omwezi guno. Omupiira gwakubeera mu kibuga Machakos Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri mu kaseera akatono eno. Tiimu zino zasisinkanyeeko ku lw’omukaaga era nebagwa maliri nga teri alengedde katimba ka munne

Olukalala lwa ba difiiri

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Akakiiko k’empaka z’ekikopo kya CECAFA kafulumizza olukalala okuli ba difiiri 18 abagenda okulamula empaka za luno Ku bano mwenda ba difiiri ate abalala ba kiyambi. Wabula bano bonna bagenda kukeberebwa n’okuyita mu kasengejja okulaba oba bali fiiti Uganda akiikiriddwa Denis Batte n’omuyambi we Mark Sonko.

Okubaka- She cranes yesozze enkambi

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Team y’abakyaala ey’okubaka eya SHE Cranes eyitiddwa okutandika okutendekebwa olunaku lwa leero nga tenagenda mu ggwanga lya Singapore ku nkomerero y’omwezi guno. Team eno erimu abazanyi 18 era nga bagenda kwetaba mu kikopo ky’amawanga omukaaga  eky’omuzanyo gw’okubaka. Uganda eggulawo n’eggwanga lya America nga 1st omwezi […]

Arsene Wenger asubwa Ferguson

Ali Mivule

November 8th, 2013

No comments

Omutendesi wa tiimu ya Arsenal. Arsene Wenger agamba nti tekikkirizikika nti bagenda kukwatagana ne Manchester united nga Sir Alex Ferguson ssi ye mutendesi. Wenger ne Ferguson beebatandisi abaali basinga okuba abakulu kyokka nga yye Ferggie yawummula mu mwezi gw’okutaano Arsenal ssinga ewangula omupiira guno ejja […]

Jay Rodriguez

Ali Mivule

November 7th, 2013

No comments

Omuwuwuttanyi wa tiimu ya Southampton, Jay Rodriguez alondeddwa okusamba mu tiimu y’eggwanga lya Bungereza omulundi ogusoose mu gw’okuzannyamu ogw’omukwano ne Chile kko ne Bugirimaani. Abalala ku bassiddwa mu tiimu omulundi ogusoose kweli goolo kiipa wa Mancity, Joe Hart. England egenda kuzannya Chile nga 15 omwezi […]