Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyemizannyo

Abawanguzi mu by’emizannyo

  Banamawulire abasaka ag’emizanyo olunaku lwa leero balonze banabyamizanyo abasinga okukola obulungi omwaka oguwedde. Mu muzanyo gw’omupiira,Dan Serunkuuma yalondedwa, mu kubaka Peace Proscovia Nasinga,mu bikonde Joseph Lubega yasinze, mu misinde Steven Kiprotich y’anywedde mu banne akendo ate nga Jas Mangat y’aleebezza abe motoka Moses Golola naye ayasinze mu muzanyo gw’ensamba ggere . Abazanyi basatu balondedwa okuvugunya ku ky’omuzanyi w’omwaka…

Read More

She- Cranes ewangudde nate

Tiimu y'abakyaala ey'omuzanyo gw'okubaka eya She Cranes erondedwa ku bw'omuzanyi w'omwezi oguwedde. Team eno okulondebwa kiddiridde okuwangula empaka z’amawanga omukaaga eza  6 Nations Cup ezibadde e Singapore omwezi oguwedde. Banamawulire abasaka agemizanyo aba USPA balonze team eno enkya ya leero mu lutuula olubadde e lugogo. She Cranes okuwangula bafunye obululu 495 nga basinze team y'omuzanyo gw'ensero oba Basketball…

Read More

Celtic ekiguddeko

Tiimu ya Celtic eragiddwa okusasula euro emitwalo 5 ng'ekibonero olw'okutimba ebipande ebyavvodde tiimu ya AC Milan Ebipande bino byabadde birumba muyizi tasubwa Bobby Sands ne William Walace ng'omupiira gwaabwe ne Ac Milan tegunnatandika Empaka babadde mu za babinyweera ba bulaaya. Ekiwandiiko ekyavudde mu UEFA kyategeezezza ng'empisa ensiwuufu bwezabadde zoolese

Read More

Tiiimu y’okubaka yakusiimibwa

Ekiteeso ekyokusiima tiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes,kisembezeddwayo okutuuka ku lw'okubiri nga ababaka bonna weebali. Omukubiriza w'olukiiko olukulu,Rebecca Kadaga ategezezza nga enkyuuka kyuuka eno bw'ekoleddwa okusobozesa ababaka bonna okuli nabo abazanya emizanyo gy'ababaka  mu  East Africa okubaawo ku  lw'okubiri lwa wiiki ejja. Tiimu  Ya She Cranes yawangudde empaka z'amawanga omukaaga okuva munsi yonna ezabadde e Singapore wiiki…

Read More

Empaka z’ababaka

Empaka z’emizannyo wakati w’ababaka ba palamenti mu mawanga ga East Africa zitandika olunaku lw’enkya Akulira akakiiko akakola ku nsonga za palamenti Dr. Chris Baryomunsi agamba nti empaka zino ezigenda okumala ssabiiti nnamba zigendereddwaamu kunyikiza nkolagana wakati w’ababaka mu mawanga gano.

Read More

FIFA ku World cup

Ssabawandiisi w’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku mupiira gw’ebigere ekya FIFA asabye bannansi ba Brazil okuwagira eggwanga lyaabwe okutegeka empaka z’ekikopo ky’ensi yonna. Banansi ba Brazil beekalakaasizza nga bavumirira omusimbi omuyitirivu oguyiiriddwa mu kuzimba ebisaawe omugenda okubeera emipiira gino. Valke agamba nti yadde abantu bano balina eddembe okwekalakaasa, bakikoledde mu budde bukyaamu

Read More

She-Cranes efunye obuyambi

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni adduukiridde tiimu  y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes n'ensimbi obukadde shs 103. Tiimu ebadde yetaaga obuyambi oluvanyuma lw'ebikozesebwa mu Singapore okuba eby'ebbeeyi ennyo nga tebatambula na nsimbi zimala. Tiimu eno yeyongedde okukola obulungi olunaku lwa leero mu mpaka zino bw'ekubye abategesi aba Singapore ku goolo 60-32. Kati erindiridde mupiira gwakulwakutaano ne Sri Lanka era…

Read More