Ebyemizannyo
Duncan awangudde
Duncan Mubiru yeyawangudde empaka z’emotoka eza Mbarara Rally ezakomekerezebwa olunaku lw’eggulo. Empaka zino zeezaguddewo calendar y’omwoka guno 2014. Ronald Sebuguzi yakutte kyakubiri ate Leila Mayanja omukyala yekka eyatabye mu mpaka zino n’amalira mukya munaana kubavuzi 28 abeetabye mu mpaka zino.
Gololo afunye omutendesi omupya
Omuzanyi wensambaggere Moses Golola afunye omutendesi omulala agenda okumuyambako okwetegekera olulwana ne Ronald Mugula omwezi ogujja. Zebra Senyange yemutendesi agenda okutendeka Golola era amakanda bagatwala Tanzania mukibuga Dar es Salaam olunaku lwaleero okutuuka nga 4th Omwezi ogujja. Golola agenda kulwana ne Mugula nga 7th March […]
Aba Congo batuuka nkya
Tiimu ya Don Bosco okuva mugwanga lya Democratic Republic of Congo etuuka wano mukampala olunaku lwenkya kumakya okuzanya ne Victoria University mu mupiira ogwokudingana mukikopo kya Africa Confederations cup olunaku lwa Sunday. Club ya Don Bosco yakujjira kunyonyi empangise nabantu 35 nga bagenda kusuzibwa ku […]
Golola wakukwatagane ke Mugula
Ekibiina ekifuga omuzannyo gw’ensamba ggere mu ggwanga kikkiriza oluzannya wakati wa Moses Golola ne Ronald Mugula ogugenda mu maaso. Omuwandiisi w’ekibina kio Eddie Gombya agamba nti oluzannya luno lwakubaawo ng’abagenda okukwatagana bawezezza Kilo 70 Gombya agambye nti bakukolagana ne poliisi okulaba nti tewabaawo kavuyo konna […]
Kiprop akubye ku matu
Omu kubaddusi ba Uganda abamannya Jackson Kiprop ,kikakasidwa nga bwatandise okukuba ku matu. Yatwalibwa mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’ensigo ze okufunamu obuzibu. Mukulu wa kiprop ng’ono ye Michael Kusuro, atutegeezeza nti mu kaseera kano omulwadde bw’azzaamu essubi nga yanywedde ku butunda n’obuugi Yye ayogerera […]
Bakkabulindi talabiseeko
Minister omubeezi ow’ebyemizanyo Charles Bakkabulindi talabiseeko mu kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza. Ono abadde yayitiddwa okunyonyola ku by’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga okuwandiisibwa nga kampuni y’obwananyini. Amyuka ssentebe wakakiiko kano Jacob Opolot ategezezza nga minister bw’amugambye nti teyafunye kumanyisibwa nti yabadde yetaagibwa mu palamenti.
Micho ayogedde awaava obuzibu
Omutendesi wa tiimu y’eggwanga eya Cranes Micho,kyaddaaki avuddemu omwaasi ku kya Uganda okuwandulwa mu mpaka za CHAN. Micho ategezezza nti Uganda okuva mu mpaka zino kyava ku butali bumanyirivu obumala,sso nga n’okujjamu Hassan Wasswa kyakosa tiimu Uganda yakubwa Morocco goal 3-1. Bino byonna bibaddewo ku […]
FUFA nfu
Abaaliko abakungu ku Lukiiko lwa FUFA balabudde gavumenti ku kya kkampuni y’obwannayini okuddukanya emizannyo gy’eggwanga Abana bano babadde mu kakiiko akakola ku byemizannyo nenjigiriz anga kano kanoonyereza ku njawukana eziri mu FUFA Nga bakulembeddwaamu John Baptist SSemanobe, bategeezezza nti benyamivu olw’omupiira engeri gyeguddukanyizibwaamu mu ggwanga […]
Gavumenti y’esse omupiira
Omupiira mu Uganda gwakusigala mu buzibu okutuusa ng’enkayaana mu FUFA ziweddewo Ssentebe wa superleague, Kavuma Kabenge bino y’abyogedde bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byemizannyo nebyenjigiriza Ono agamby eni obuzibu bwa Uganda buviira ddala ku baddukanya omupiira nga bebeetaga okutereeza Kyokka yye omusango […]
Uganda Cranes ekyalimu essuubi
Yadde nga Uganda cranes yawanduddwa mu mpaka za Chan, abamanyi eby’omupiira bagamba nti tiimu eno yakoze nnyo Eyaliko omutendesi, Mike Mutebia gamba nti empaka zino zisinze kuyamba bazannyi bato kufuna obukugu Ono agamba nti bano basobola bulungi okuwawulwa nebazannya bulungi gyebujja ng’abantu tebasaanye kuggwaamu ssuubi […]