Ebyemizannyo
Tiimu y’okubaka egenda Botswana
Team yabato eyomuzannyo gwokubaka yakugenda e Botswana mumpaka ezokusunsulamu abanetaba muza Commoen wealth games omwaka guno. Kino kidiridde akafubo akabaddemu minister webyemizanyo Hon Charles Bakabulindi wamu nabakungu ba Uganda Olympics committee olunaku lweggulo. Team eno yali yawandukululwa kulukalala lwemizanyo egitwalibwa e Botswana mumwezi gwokutaano […]
Empaka z’emotoka-Kansiime awangudde
Jonas Kansiime eyabadde avuga motoka yekika kya Subaru Impreza 10 yawangudde empaka za Source of the Nile race ezakomekerezebwa e Jinja. Ronald Sebuguzi yakute kyakubiri ate ye Irene Leira Blick omukyaala eyetabye mumpaka zino namaliri mukifo ekyokuna. Abavuzi 15 ku 26 bebasobodde okumalako empaka zino […]
Leon Matovu awangudde obugaali
Leon Matovu y’awangudde empaka z’obugaali eza Memorial Race,nga zino zezaguddewo calendar y’omwaka guno olunaku lw’eggulo. Matovu okuwangula yavugidde essaawa 3 neddakiika 24 okuva e’Lugogo nga bwebetoloola ebitundu ebirinanyeewo. Abavuzi 17 ku 53 abetabye mumpaka zino kuludda olwabasajja bebasobodde okumalako empaka zino. Ate mubakyala,Ayebale Marion owa […]
Schumacher akubye ku matu
Munnabyamizannyo Michael l Schumacher azze akuba mu matu . Ab’omu maka ge bategeezezza beebategeezezza bino Abasawo mu ggwanga lya Bufaransa babadde bakola kyonna ekisoboka okulaba nti adda engulu ng’abadde assiza ku byuuma bukyanga afuna kabenje nga 29 omwezi gwa December. Schumacher omuvuzi w’emmotoka z’empaka yagwa […]
She-cranes afunye obuwagizi
KKampun ya National Insurance coporation olunaku lwa leero ewadde Fufa ensimbi eziwerera ddala obukadde shs 660m nga zino zigenda eri abasambi ba team yegwanga eya Cranes wamu nabakungu baayo. Ssente zino zakuyambako omuzanyi oba omukungu wa Cranes singa afuna obuvune obutamusobozesa kuddamu kusamba mupiira obulamu […]
Eza Kakungulu ziddamu leero
Empaka za Uganda Cup ezayitibwanga Kakungulu ziddamu olunaku lwa leero ku lukontana olwo team 32. Waliwo ekyukakyuuka mu mipiira egimu olwebisaawe ebitamala wamu nenkyuuka kyuuka mu mipiira gya league ya Fufa. Egimu kugigenda okuzanyibwa kuliko Kcc fc ne Friends of Soccer e Lugogo kwosa nabalina […]
USL ne FUFA- abakulu bongedde okukwatagana
Kiraabu za Fufa super league olunaku lw’eggulo zaatudde mu kafubo nomukulembeze wa Fufa Moses Magogo nebakkiriziganya ku ky’okugenda mu maaso n’enteseganya ez’okuzza obumu mu mupiira gwa Uganda. Magogo wiiki ewedde yasisinkana gavumenti wamu n’abakungu ba Uganda Super liigi okutema empenda ez’okulaba nga liigi ya Uganda […]
Golola awangudde
Moses Golola awangudde munne gwebaludde nga begaya Ronald Mugula Golola Mugula amukubidde mu luluma lw’okutaano mu mpaka ezibadde ku Freedo City. Mu luzannya lwonna nga Golola emiguwa agyefuze
FUFA USL bategeraganye
Ekibiina ekikulembera omupiira mugwanga ekya Fufa wamu ne Uganda Super league kyaddaaki bamaze nebakiriziganya ekyokubeera ne league emu mu ggwanga. Kino bakikoze mu office ya minister Charles Bakabulindi akawungeezi ka leero okumalawo endoolito mu mupiira ezimaze omwaka gumu nekitundu nga Uganda erina leagues bbiri. Fufa […]
Emisinde gy’amazaalibwa g’omutanda
Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga atongozezza emisinde gy’amazaalibwa g’omutanda. Emisinde gino gigenda kubeerawo nga 4th omwezi ogujja ng’abaddusi bakusimbula Mengo Ku Lubiri basale okuyita ku Kayanja ka kabaka okutuuka e Kasubi. Kamalabyonna agambye nti ekigendererwa kya luno kwolesa byabuwangwa bya bwakabaka. Emikolo gino […]