Ebyemizannyo

omusawo wa Vipers FC aziikibwa nkya

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Omuwandiisi wa team ya Vipers Fc eyayitibwanga Bunamwaya Haruna Kyobe, ategezezza nga bwebakola ekisoboka okulaba nga baleeta omulambo gwabadde omusawo wa team eno eyafiride mukabenje mu district ye Adjumani olunaku lweggulo. John Senkumba era nga ye manager womuyimbi Young Mulo yafiride mukabenje motoka gyeyabademu bweyamulemeredde […]

Owa Vipers alinnye amadaala

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Omuzanyi wa Cranes ne Vipers fc Yunus Sentamu, wakuwandiisibwa mu kibiina ekikulembera omuzanyo gwomupiira mu Africa ekya CAF week eno okusobola okuzanyira team ye empya eya AS Vita Club eya Democratic Republic of Congo. Omuwandiisi wa club gyabadde azanyira wano mugwanga Haruna Kyobe bwabadde yakakomawo […]

Rugby egenze jjinja

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

Kkampuni  ya Nile Special olunaku lwa leero etadde omukono kundagano yamyaka ebiri nga eteeka ssente obukadde shs 460 mu mirimu gyekibiina kyabanamawulire abasaka agemizannyo. Bwabadde ayanjula enteeka teeka eno enkya ya leero ku Hotel ya Imperial Royale,omukungu wa company ya Nile Special Isaac  Sekasi ategezezza […]

Eza yunivasite ziyinda

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

Team Makerere University Business school emazeewo esuubi lya team ya Mbarara University of Science of Technology okwesogga oluzannya lwokusirisizaawo  bwegiwutudde goal 2-1 olunaku lwa leero mu league yamatendekero ga University egenda mu maaso wano ggwanga. Omupiira guno gubadde Mbarara era goal za MUBS zitebedwaAdula Aron ne […]

Ebikonde by’abakyala- beesunga

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

Diana Turyanaba aweze okuwangulira Uganda omudaali mu mpaka z’abakyala ez’ebikonde Turyanaba yoomu ku bawala omukaaga abagenda okukwatira Uganda bendera mu mpaka za babinyweera ezibindabinda Ono agambye nti ekigendererwa kye kumalaka okutuuka ku luzannya olusemba ekinamufuula omuwanguzi

Omu afudde mu mpaka z’omutolontoko

Ali Mivule

April 14th, 2014

No comments

Omuntu omu afudde oluvanyuma lw’okutondoka n’agwa ng’amaze okudduka emisinde gya London marathon egyabadde e Bungereza olunaku lweggulo. Omusajja atayatuukiriziddwa manya nga aweza egyobukulu 42 abasawo bakakasizza nga bw’afiridde mu dwaliro oluvanyuma lw’okumalako emisinde egy’okwetolola egyakasameeme egyetabiddwamu munayuganda Steven olunaku lweggulo. Alina record yemisinde gino,muna Kenya […]

URA yakufuna ekisaawe

Ali Mivule

April 11th, 2014

No comments

Team ya Uganda Revenue Authority olunaku lwa leero etongozza enteekateeka ey’okuzimba ekisaawe ky’omupiira,ekigenda okutuuza abantu 25,000 e Bugema. Bwabadde ayanjula enteeka teeka eno,akulira club eno Ali Sekatawa ategezezza nga ettaka lino bweriweza acres 10. Ssekatawa agambye nti kuttaka lino bagenda kuzimbako ebisaawe  ebyokutendekebwako era nga […]

Uganda eyongedde okusereba

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Uganda kati eri mukifo kya 86 okuva mukye 85 munsengeka ezifulumiziddwa ekibiina ekifuga omupiira gw’ebigere mu nsi yonna ekye FIFA. Spain ekyakulembedde n’eddirirwa Germany mu nsi yonna ate Ivory Coast ekulembedde mu Africa wabula mu nsi ekwata kya 21. Yo Brazil ,abagenda okutegeka ekikopo kyensi […]

FUFA efunye akabonero akapya

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Ekibiina ekikulembera omupiira gwakuno kitongozza akabonero akapya akagenda okukozesebwa team ya Cranes mumpaka zomupiira ozokusunsulamu abanetaba muza Africa omwaka ogujja. Omukulembeze wa Fufa Moses Magogo kino akikoze kumukolo ogwokutongoza empaka zekikopo kya Africa ezigenda okubeera e Morocco omwaka gwa 2015. Akabonero akapya kawukana kwaako akabadewo […]

aba KCCA bafunye baasi

Ali Mivule

April 9th, 2014

No comments

Aba tiimu ya KCCA FC bafunye baasi enatambuzanga abazannyi mu kawefube w’okwanguyiza tiimu. Ekiteeso ekisaba nti baasi eno egulwe kyayisibwa mu mwaka gwa 2012