Ebyemizannyo

Uganda cranes- Moses Oloya atuuse

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

Omuzanyi Moses Oloya okuva e Vietnam, atuuse munkambi ya Cranes emisana ga leero nga team ye gwanga yetegekera omupiira ogw’okudingana ne Madagascar ku lwomukaaga lwa week eno e Namboole. Akulira ebyamawulire munkambi ya Cranes Katende Malibu ategezezza nti abazanyi bali mumbeera nungi era balindiridde captain […]

Uganda ewanduse mu kuwuga n’akazito

Ali Mivule

May 27th, 2014

No comments

Uganda esigadde mu mizannyo ebiri gyokka omuli ogw’okubaka n’emisinde mu mpaka zabato eziyindira mu gwanga lya Botswana. Kiddiridde okuwanduka mu mizanyo emirala omuli Badminton n’okuwuga ng’obuzibu buvudde ku kutwaala bazannyi batawera Bo ababasi bawangudde Namibia ku bugoba 51-25 enkya ya leero. Bo ab’emisinde bakudduka olunaku […]

Emisinde gya Akiibua

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Poliisi etegeezeza nga bw’emazze okwetegekera obulungi emisinde egigenda okubaawo ku  lunaku olwa Sunday, nga gino gyeginaweerekera ebikujukko bya poliisi okuwezza emyaka 100. Gino emisinde gigenda kugulwaawo sipiika wa palament y’eggwanga , era nga gitambulidde ku mulamwa ogw’okusonda ensimbi ez’okuymba abaayirwa acid. Ayogerera poliisi mu kampala […]

Omupiira gwa Madagascar- Tikiti zituuka lwa kutaano

Ali Mivule

May 21st, 2014

No comments

Tikiti z’omupiira  gwa Uganda Cranes ne Madagascar ogwokudingana zakutandika okutundibwa kulwokutaano lwa week eno. Tickets zino ziri kumitwalo shs 20,000 ,shs 50,000 wamu ne shs 150,000 ezekikungu. Akulira ebyensimbi mu Fufa Decolas Kiiza akubiriza bana’Uganda okugula tickets zino mubifo byoka Fufa byetaddewo. Uganda egenda kuzanya […]

Bamusaayi muto basitula nkya

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

Team yabamusaayi muto eyomuzannyo gwokubaka eya She Pearls egenda kusitula enkya kulwokusatu okwolekera egwanga lya Botswana mumpaka za Africa Youth championships. Team eno egenderako abazannyi 10 wamu nabakungu babiri okuli omutendesi Mubiru Rashid nomuwandiisi wekibina ekikulembera omuzannyo guno mugwanga Annet Kisomose. Emizannyo emirala egigenda okukirira […]

Micho akyaali mugumu

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

  Omutendesi wa tiimu y’eggwanga Micho agamba nti essuubi terinnagwaawo eri Uganda mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z’ekikopo kya Africa. Kiddiridde Cranes okukubwa goolo 2 ku 1 mu mupiira ogwazanyiddwa olunaku lwajjo. Micho agamba nti Uganda tennafiirwa mikisa gyonna kubanga yasobodde okujjayo ggoolo emu […]

ab’ebikonde bategeka

Ali Mivule

May 15th, 2014

No comments

Abakubi b’engumi abawerera ddala 26 beebesozze enkambi okutendeka nga betegekera ogw’omukwaano ne Kenya nga 31 omwezi guno Enzanya zakubeera Lugogo Omwogezi w’ekibiina ky’omuzannyo gw’ebikonde, Fred Kavuma agamba nti bategese empaka zino nga beetegekera empka za common wealth games mu mwezi gw’omusanvu

Kibuli ayiseewo

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Essomero lya Kibuli ss lyegasse ku Mvara,Cityzen High wamu ne Mehta elya Buikwe kuluzannya lwa Semi finals mumpaka za Copa Coca cola e’Gulu. Go amassomero agabadde gasuubirwa okukola obulungi okuli st Juliana elya Gayaaza wamu nabawangula ekikopo kino omwaka oguwedde aba st Mary’s Kitende bawanduse […]

Cranes etandise okutendeka

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Team y’eggwanga eya Cranes etandise okutendeka  akawungeezi ka leero mukisaawe e’ Namboole nga yetegekera empaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja. Mujib Kasule akulira ebyekikugu mu Fufa ategezezza nga team bwesuubirwa okusitula nga 16th week ejja okugenda e Madagascar gyegenda okusamba omupiira ne team yegwanga […]

St Mary’s Kitende ewanduddwa

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

Mu mpaka z’amasomero aga secondary schools ezigenda mumaaso e’Gulu,team ya St Mary’s Kitende ewanduse mumpaka zino oluvanyuma lwokukubwa Cityzen High okuva Isingiro. Team zombi  ziremaganye nga teri ateebye munne muddakiika ekyenda wabula Cityzen High newangula mukakodyo ka penalties goals 4-2. Mumpaka zezimu,essomero lya St Juliana nalyo […]