Poliisi ya kuno etegese okuvaayo n’amateeka amakakali aganaagobererwa mu kulaga emipiira gy’ekikopo ky’ensi yonna egigenda okutandika mu ssabiiti eno, okusobola okutangira emiranga egyaliwo mu 2010
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2010, abawagizi b’omupiira abasoba mu 70 bafiira mu bulumbaganyi bwa bbomu obwali e Kyaddondo Rugby grounds ne Ethiopian village e Kabalagala bwebaali balaba empaka z’ekikopo ezakamalirizo.
Omwogezi…
Tiimu ya AC Milan egobye abadde omutendesi wa tiimu eno Clarence Seedorf nga tannaweza na myezi etaano mu kifo kino.
Filippo Inzaghi kati y’azze mu bigere bye.
Seedorf bukyanga atendeka tiimu ya Ac Milan abadde alemereddwa okuzza tiimu engulu nga mu mpaka ezakaggwa yafuna obubonero 45 egyagireka emabega wa Juventus.
Omutendesi wa tiimu ya KCCA George Best Nsimbe agamba nti yetegese ekimala mu mpaka z’akamalirizo mu kikopo kya Uganda Cup.
Nsimbe agamba nti mukakafu nti ekikopo kino agenda kukyezza mu mpaka ezigenda okubeera e Mbale .
KCCA egenda kwambalagana ne Uganda Revenue authority .
Tiimu eno wabula egenda mu mpaka zino nga terina makugu baayo okuli Tonny odur…
Muyizi tasubwa wa Manchester united Wayne Rooney nti ajja kusanyuka okukiikirira tiimu ye mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu Brazil.
Rooney ow’emyaka 28 agamba nti yye webanamussa wejja okuzannyira ekikulu nti ali ku tiimu
Ono Yakateebwa goolo ana mu mipiira gy’ebweru ate nga mu mpaka za World cup zeyetabyeemu, tateebangako yadde ogumu
Kyadaaki aba FUFA bawaddeyo ebiwandiiko ebyabasabiddwa kaliisoliiso wa gavumenti.
Kiddiridde kaliisoliiso bano okubawa nsalessale wa leero okuwaato ebyaapa bya FUFA omuli n’aky’ettaka okutudde FUFA House
Omwogezi wa Kaliisoliiso Ali Munira akakasizza nti ebiwandiiko bino babifunye
Kaliisoliiso anonyereza ku mivuyo egiri mu FUFA.
Tiimu ya Uganda eyabato abali wansi wemyaka 18 eya She Pearls,ekomawo leero ku ssaawa taano ezekiro okuva mugwanga lya Botswana oluvanyuma lwokuwangula ekikopo mumpaka za Africa youth championships week ewedde.
Team eno wamu nemizannyo emirala egyakikirira Uganda okuli,okuwuga,emisinde,Badminton.Table tennis bonna bakujjira ku nnyonyi ekiro era nga minister wemizanyo Charles Bakabulindi yasuubirwa okubaniriza kukisaawe e’Ntebbe.
Kati Uganda yakwetaba…
Eyaliko nantameggwa w’embiro za mita 100 ne 200 omumerika Tyson Gay wakuddamu okudduka oluvanyuma lw’ensibo eyamussibwaako okuggwaako
Gay yawummuzibwa mu myezi gw’okutaano omwaka oguwedde oluvanyuma lw’okukakasa nti enjaga gyeyali anuusa yali emuyambako okufumuuka
Gay agamba nti ekibonerezo ekyamuweebwa kimuwadde amaanyi okuddamu okukola ennyo era ng’alinze empaka z’anasooka okwetabamu.
Bannamawulire abasaka agemizannyo balonze team ya Uganda eyomuzannyo gwokubaka eya She Pearls kubwomuzanyi womwezi oguwedde olunaku lwa leero.
Team eno okuwangula kidiridde okukola obulungi mumpaka zabato ezibadde ziyindira mu gwanga lya Botswana omwezi oguwedde.
Team eno yawangula Kenya kubugoba 40-24 mu finals okuwangula ekikopo mumpaka zino.
Guno gwemulundi ogusookedde ddala omuzanyo gwokubaka okwetaba mumpaka eziri wansi wemizanyo gya…
Ng’omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Madagascar gubula ssaawa ntono, bannayuganda bangi balabise nga tebagwesunze
Okwawukanako nga bwekiba bulijjo mu kaseera kano ng’abantu beetala kugula mijoozi na vuvuzela, ku luno tewali bbugumu
Abamu ku bantu era betwogeddeko nabo abamu tebamanyi nti waliyo n’omupiira enkya
Uganda ezannya Madagascar mmu gw’okuddingana mu z’okusunsulamua beenetaba mu kikopo ky’amawanga ga Africa.
Uganda Yakubwa…
Abazannyi ba Uganda cranes bakyagenda mu maaso n’okwetegekera omupiira gwaabwe ne Madagascar.
Olwaleero abazannyi bano beegattiddwaako Yunusu Ssentamu.
Bano kati balindiridde kaputeni waabwe Andy mwesigwa abeegattako ekiro kya leero.
Mu mupiira ogwasooka Madagascar yakuba Uganda goolo 2 ku emu
Omupiira guno gwakubeera Namboole ku lw’omukaaga ku ssaawa kkumi.