Ebyemizannyo
Empaka z’ebika – Ekisaawe kirambuddwa
Minister webyemizannyo mubwakabaka bwa Buganda owekitiibwa Henry Sekabembe olunaku lwa’leero alambudde ekisaawe kya Muteesa 2 ekye’Wankulukuku nga o’Buganda bwetegekera okwaniriza Ssabassajja Ronald Muwenda Mutebi owokubiri kumpaka eziggulawo emipiira gyebika bya Baganda kulwomukaaga lwa week eno. Katikiro wabuganda owek Peter Mayiga yasuubirwa okutongoza empaka zomwaka guno. […]
Cranes ekomawo nkya
Team yegwanga eya Cranes yakutuuka kuno olunaku lwenkya okuva mu ggwanga lya Mauritania gyeyawangulidde omupiira eggulo ku goal 1-0. Team eno yessozze ekibinja ekyokutaano omuli amawanga Ghana,Togo ne Guinea era kuno ekibiina ekikulembera omupiira gwa Africa ekya CAF kwekigenda okulonda teams wamu nebibinja ebirala ezinasamba […]
Sekabembe abuuse n’ekikomo
Munnayuganda omukubi w’engumi, Mike Ssekabembe awanduse okuva mu mpaka za commonwealth games Kino kitegeeza nti omungereza Joe Joyce ayiseewo butereevu mu kulwanira zaabu nga kati yye ssekabembe afunye kikomo Sekabembe bamusuulidde ku mutendera gw’okukebera oba abazannyi tebalina wabaluma era Sekabembe okumukebera ng’omukono gwe gubaddeko obuzibu
Cranes akyusizza entambula
Tiimu yegwanga eya Cranes ekyuusizza entambula yaayo okugenda e’Mauritania okuzannya omuppiira ogwokudingana mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja. Team eno ebadde yakusitula kumakya ga leero wabula bakyuusiza era basuubira okugenda ekiro kya’leero nenyonyi ya Ethiopia Airlines nga bwebalinda kubazanyi okuva e’South Africa kuli […]
Muna-uganda akayiseeko
Okuvaako mu kibuga Glasgow ekya Scotaldn mu mpaka za Common wealth, Winnie Nanyondo ayiseewo okutuuka ku ziddirira ezakamalirizo mu misinde gye Mita 800 Nanyondo akutte kyakubiri mu misinde gino ate nga mugy’abasajja Ronald Musagala nate ayiseewo. Mu mizannyo gino, Australia y’ekyakulembedde n’emidaali 106
Munna Uganda yessozze oluzzanya oluddirira olwakamalirizo
Okuvaako mu kibuga Glasgow ekya Scotland, ewali emizanyo gy’amawanga agali amatwaale ga Bungereza, munna Uganda omukubi w’ebikonde Mike Sekabembe ayiseemu okugenda kuluzanya oludako . Ono okuyitamu, kidiridde okuwutula munne okuvva mu gwanga lya Ghana, bwebabade bavuganya mubuzito obwa super heavy weight. Kaakati ono singa asukka […]
Ow’obugaali abivuddemu
Omuvuzi w’obugaali omukyala Wendy Huvenahel alangiridde nga bw’avudde mu mpaka za Common wealth eziggyiddwaako akawuuwo olunaku lwaleero Wendy ow’emyaka 39 yawanagula silver mu Beijing china mu mwaka gwa 2008 kyokka nga mu kadde kano yafuna obuvune ku mugongo. Omukyala ono era yawangulako Gold mu mpaka […]
Obululu bw’emipiira gy’ebika
Obululu bwempaka zebika bya’Baganda ezwomwaka guno bukwatidwa olunaku lwa’leero e’Nakivubo. Mamba Gabunga wamu nebazukulu bamutesasira ebe’Ngo bebagenda okuggulawo ezomwaka guno mukisaawe e’Nakivubo. Ebika 41 byebikakasizza okwetaba mumpaka zomwaka guno era akakiiko akategesi kalindiride olunaku wakati wa 16th ne 23rd omwezi ogujja Beene bwanasiima okuggulawo emipiira […]
Rodriquez agenze mu Real Madrid
Wetwogerera nga James Rodriguez amaze okwegatta ku tiimu ya Real-Madrid Ono avudde mu bafaransa aba Monaco. Ono endagaano gy’assizzaako emikono ya myaka mukaaga Ono agenda kusasulwanga obukadde bwa Euro 80 nga ye muzannyo w’okuna okusasulwa obulungi mu nsi yonna okuva ku Gareth Bale Roanldo ne […]
Brazil yeesobola- Omutendesi
Omutendesi wa tiimu ya Brazil Luiz Felipe Scolari agamba nti mukakafu nti oludda lwe lujja kusobola okuwangula yadde neymar tagenda kubeera ku lukalala Neymar yakateeba goolo nnya eza Brazil ku ggoolo ekkumi gyeyakateeba mu mpaka zino. Scolari agamba nti bategefu okugenda mu maaso nga Neymar […]