Ebyemizannyo
Ballotelli agenze mu Liverpool
Liverpool eguze Mario Balloteli okuva mu Ac Milan ku bukadde bwa pawunda 16 Endagaana Balloteli gy’asizzaako emikono ya myaka esatu Buli wiiki Balloteli wakufunanga emitwaalo gya doola 12 n’ekitundunga zino mu za Uganda bwebukadde 525.
Algeria eyimirizza emipiira
Algeria eyimirizza okuzannya omupiira okumala ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’okufa kw’omuzannyi wa Cameroun Albert Ebosse Kino kisaliddwaawo ekibiina ekitwala omupiira gw’ebigere mu ggwanga lya Algeria Ebosse, ow’emyaka 24 yakubiddwa ejinja ku mutwe n’afa bweyabadde ava ku kisaawe ng’eggwanga lye lisamba ne Algeria Ab’obuyinza mu Algeria […]
KCCA ewanduse mu CECAFA
Tiimu ya KCCA ewanduse mu mpaka za CECAFA Kagame cup. Kiddiridde okukuba Elmerrik eya Sudan goolo 3 ku emu mu kusimula obunnya Eddakiika ekyenda ekyasoose , KCCA ne Elmerrik bonna bafunye goolo bbiri ng’eza KCCA zateebeddwaTom Masiko ate Brian Umwonyi mu kitundu eky’okubiri
Cranes yesozze enkambi
Omutendesi wegwanga Micho olunaku lwa’leero ayise abazanyi 25 okutandika okwetegekera emipiira okuli ogwa Ghana ne Guinea mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morocco. Abamu kubayitidwa kuliko Goalkeeper Dennis Onyango,Ochan Benjamin,ate abalala nekubaako Andy Mwesigwa, Savio Kabugo, Umony Brian, Massa Geoffrey wamu […]
Emipiira gy’ebika gyesibye
Akakiiko akategesi kemipiira gyebika bya Baganda kategezezza nga bwekagenda okutuula kasalewo kukyemipiira ebiri egitazanyidwa olunaku lweggulo wakati we’Mpologoma ne Omutima Omuyanja kwosa ogwo’Lugave ne Ngaali. Team ya Ngaali ne Mpologoma tezalabiseeko wabula zawandiikidde akakiiko oluvanyuma lwokufuna Fixtures ekikeerezi era omuwandiise Mwami Kabunga ategezezza nga bwebagenda […]
Tiketi zitundibwa nkya
Tiketi z’omupiira gwa Uganda Cranes ne Guinea zakutandika okutundibwa olunaku lwenkya mubifo ebyabulijjo. Akulira ebyamawulire mu Fufa,Hussein Ahmed ategezezza nga abawagizi enkumi etaano (5,000) abanasooka okugula tickets zino bwebagenda kubasalirako okuva kumitwaalo ebiri (shs 20,000) okutuuka ku mutwalo gumu nekitundu (shs 15,000). Kino bakikoze okusikiriza […]
Suarez akyakaliko
Kkooti etawuuluza enkaayana z’emizannyo eremezzaayo ekibonerezo ky’emyezi ena egyaweebwa Lius Suarez nga takoona ku kapiira ka mpaka zino. Wabula ono akkiriziddwa okugenda mu maaso n’okutendeka ne tiimu ya Barcelona gyeyakegattako Suarez avunaanibwa kuluma munne omu Italy mu mpaka z’ekikopo ky’ensi Uruguay bweyali ezannya ne Italy
Ab’amaggye basimbudde
Amagye ga UPDF gasindisse team 5 ez’abanamagye nga bano Bebagenda okukiikirira Uganda mumizanyo gy’amage ,ga’mawanga aga east Africa egigenda okubeera mu kibuga Zanzibar akya Tanzania. Zibno team zigenze nabantu 101, nga bano bagendda kwetaba mumizanyo okuli omupiira, omupiira ogwengalo,okubaka,Basketball, kko nemisinde . Bwabade asibula teama […]
FUFA efulumizza ebisale
Fufa efulumizza ebisale byemipiira gya Uganda Cranes,egigenda okuzanyibwa Namboole okutandika nomwezi ogujja mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa mugwanga lya Morocco omwaka ogujja. Uganda yakusooka kukyaaza Guinea nga 10th omwezi ogujja,ezzeeko Togo nga mu October oluvanyuma esembyeeyo Ghana mu November womwaka guno. Akulira ebyensimbi […]
CAF- Sierraleon ekyusizza
Ekibiina ekikulembera omupiira kulukalu lwa Africa ekya CAF kikirizza egwanga lya Sierra Leon okulyaliza emipiira gyayo mugwanga eddala erya Ghana. Kino wekigidde nga Democratic Republic of Congo esabye obutagenda mugwanga lya Sierra Leone olwekilwadde kya Ebola ekyabalukawo mubitundu byebugwanjuba bwa Africa. Emipiira emirala okuli ogwa […]