Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyemizannyo

Uganda cranes yetegese- Serunkuuma mulwadde

Team yegwanga eri munsiike leero negwanga lya Togo mukibuga Lome akawungeezi ka leero mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu kikopo kya Africa muggwanga lya Morocco omwaka ogujja. Agava mu nkambi ya Uganda Cranes e Togo galaga nti omuzanyi Yunus Sentamu tagenda kusamba olw’omusujja ogwamuyiikidde Okusinziira ku munamawulire wa team eno Fred Katende,ategezezza nga Sentamu Bweyaweredwa obujanjabi wabula nga…

Read More

Suarez yejjusa

Muyizi tasubwa wa Barcelona Luis Suarez agamba nti naye takikkirizanga nti yaluma munne bwebaali mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna Suarez yegatta ku Barcelona okuva mu Liverpool mu mwezi gw’omusanvu era nga yaweebwa ekibonerezo kya myezi ena nga takoona ku kapiira Omukulu ono agamba nti naye asanze obuzibu okukkiriza nti yakola ekikolwa kino kyokka ng’agamba nti naye Muntu…

Read More

Abantu bagumbye e Namboole okulaba ku Adebayor

    Abantu beesombye okugenda mu kisaawe e Namboole okulaba ku kafulu mu kusamba omupiira era emunyenye ya Togo Emmanuel Adebayor. Tiimu ya Togo etuuse leero era n'entendeka mu kisaawe e Namboole akawungeezi ka leero. Ne Uganda cranes bw'etyo ng'etendese ogusembayo ng'erindirira okusamba Togo. Ab'ekibiina kya FUFA balabudde dda nti ssibakukkiriza muntu yenna anajja n'emujoozi oguliko ebigambo by'obufuzi  

Read More

Ogwa Uganda ne Togo gwakubeera ku Supersport

Team yegwanga eya Cranes ezzeemu okutendekebwa enkya ya leero e’Namboole nga yetegekera omupiira gwa Togo kulwomukaaga lwa week eno mukisaawe e’Namboole mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja mugwanga lya Morocco. Team ya Togo efulumiza olukalala lwabazanyi 24 abagenda okujja e’Kampala okusamba omupiira guno nga kuno kuliko Emmanuel Adebayor aguzanyira mu team ya Tottenham mu’Bungereza. Okusinziira…

Read More

Omupiira gwa Simba guyimiriziddwa

Ekibiina ekiddukanya liigi y’eggwanga kiyimirizza omupiira wakati wa tiimu ya Simba FC ne Sowana Kino kikoleddwa okusobozesa bannabyamizannyo okukungubagira Fahad Musana eyafudde wakati mu mupiira gwa Mancity ne Chelsea. Musana yakutuse mu kaseera Mancity weyateebedde goolo yaayo. Akulira Uganda pulimiya liigi Bernard Bayina amaanyi agamba nti bakuwerekera omugenzi okuziikibwa e Iganga. Wajja kubaawo era okusirikiriramu okusabira omugenzi.

Read More

Maneja wa Cardiff alekulidde

Maneja wa tiimu ya Cardiff City Ole Guna Sosha  alekulidde ekifo kino nga teginnawera mwenda mu ntebe. Okulekulira kwa Sosha kulangiriddwa oluvanyuma lw’okusisinkana ssentebe Dalman. Aba Cardiff bali mu kifo kya 17 mu zababinyweera  nga bakawangulwa emipiira esatu ku mipiira musanvu gyebakasamba Mu kadde kano omuzibizi Danny Gabbidon ne Scot Yanga beebakutte enkasi

Read More

Tiketi za 5000

Fufa efulumizza ebisale byomupiira gwabato abali wansi wemyaka 17 ogw’okudingana wakati wa Uganda ne Zambia . Omupiira guno gwa ssabbiiti ejja ku kisaawe e Nakivubo. Okuyingira kwa shs 5,000 ne shs 20,000 eri abakungu Zambia yakuba Uganda week ewedde goals 2-0 mu mupiira ogwasooka mukibuga Lusaka. Anayitawo,wakwetaba mumpaka ezakamalirizo ezigenda okubeera mugwanga lya Niger omwaka ogujja.

Read More

Tiimu y’abato etendeka

Tiimu ya Uganda eyabato abali wansi wemyaka 17 eddamu okutendekebwa akawungeezi ka leero e’Namboole nga yetegekera omupiira ogwokudingana ne Zambia week ejja mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa Under 17 omwaka ogujja mugwanga lya Niger. Zambia yakuba Uganda goals 2-0 weeke ewedde wabula wetwogerera nga Uganda yawaabye dda mu CAF alwa Zambia okuzanyisa abazannyi abakulu. Omupiira ogwokudingana Fufa…

Read More