Ebyemizannyo
Uganda etandise bulungi mu kubaka
Uganda etandise na buwanguzi mu mpaka z’okusunulsamu abaneetaba mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka. Uganda ekubye Zambia ku bugoba 53-45 mu kibuga Gabrone ekya Botswana mu mpaka z’okusunsulamu abanaakikirira Ssemazinga wa Africa omwaka ogujja mu kibuga Sydney ekya Sydney. Uganda eddamu kuzanya Zimbabwe olunaku olw’enkya.
Totenham etundibwa
KKampuni ya Cain Hoy akakasizza nga bw’eyagala okugula kiraabu ya Tottenham Hotspur. Ekiwandiiko ekivudde mu kkampuni eno kitegeezeza nga kyatandise dda okuteesa ku ky’okugula kkampuni na ssente mmeka Aba Kiraabu ya Spurs olunaku lwajjo bawakanyizza ebigambibwa nti bagitunda
Pistorius gumusse mu vvi
Omufubutusi w’embiro okuva mu ggwanga lya South Africa nga omulema Oscar Pistorius, asingisiddwa omusango gw’okutta muganzi we mu butanwa. Bwabadde awa ensalaye, Omulamuzi Thokozile Masipa ategezezza nga ono bweyeyisa mu ngeri y’obulagajavu n’akuba amasasi mu lujji lwa kabuyonjo ewaali muganzi we Reeva Steenkamp n’amutta. […]
Blatter ayagala kisanja
Akulira ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna omukulu sepp Blatter azzemu okukikkatiriza nga bw’ayagala ekifo kino Blatter ow’emyaka 78 ayagala akkirizibwe atwaaleyo ekisanja ekirala kimu ekintu ekiwakanyizibwa ba kooki abamu
FUFA ne Maroons bakuteesa
Akulira FUFA Moses Magogo ne Maroons FC bawereddwa omukisa ogusembayo okuteeseza ebweru wa kkooti Omulamuzi wa kkooti enkulu Steven Musota enjuuyi zombi aziwadde amagezi okusooka okugezaako okuteesa nga bayambibwaako minisita omubeezi akola ku byemizannyo Charles Bakkabulindi Bano baakudda mu kkooti ku lw’okuna okunyonyola omulamuzi webatuuse […]
Empaka za puulu zigyiddwaako
Empaka z’omuzanyo gwa Golf eza Tasker Malt Uganda Open zigyiddwaako akawuuwo olunaku lwa leero wano mu Kampala. Empaka ezitegekeddwa ku Uganda Golf Club era zeetabiddwaamu abazanyi abawerera ddala ebikumi bisatu nga zitandise na kwegezaamu eri abazanyira ensimbi wamu n’abayiga. Olunaku lwenkya,lweziddamu ng’abazanyi okuva mu mawanga okuli […]
Egy’ebika gyesibye- tebalabiseeko
Mumpaka zemipiira gyebika bya Baganda olunaku lwa’leero.Ennyonyi Nyange telabiseeko mukisaawe ewankulukuku nga ebadde erina okukwatagana nekika kyo’Mutyima Omuyanja. Abakulira ekika kye’Nyonyi bo bategezezza nga bwebafuna amawulire gomupiira guno ekikerezi. Mungeri yemu akakiiko akategesi kemipiira gino,kategezezza nga emipiira egitazanyibwa week ewedde olwokutataganyizibwa kwenkuba,gyakuzanyibwa olunaku lwenkya kulwokubiri […]
Cranes yesozze enkambi
Tiimu y’egwanga eya the Cranes eyingidde munkambi nga esuzibwaayo ku Sky Hotel olunaku lwa leero. Okusinziira kumwogezi wa team eno Fred Katende Malibu,ategezezza nga abazanyi abalala okuli Walusimbi Godfrey,Baba Kizito ne Ssentamu Yunus bwebegase ku team eno era Cranes esuubirwa okusitula ku Sunday eno okwolekera […]
Golola azannya nga mukaaga
Empaka zomuzanyo gwensamba’ggere wakati wa Golola Moses n’omumerika Richard Abraham ezibadde ezokuzanyibwa leero,zongezedwaayo okutuuka nga 6th September,ye week ejja kulwomukaaga ku speak Resort Munyonyo. Okusinziira kukitunzi wa Moses Golola,omwami Lukas ategezezzanga nga bwebafunyemu okutataganyizibwa nebyentambula zomu’Merica Abraham wabula kumulundi guno wakutuuka mubudde era Tickets zakutundibwa mubifo […]
Rooney ye Kaputeni wa Bungereza
Muyizi tasubwa wa Manchester United Wayne Rooney alondeddwa nga kaputeni wa Bungereza omudda Rooney ow’emyaka 28 alondeddwa omutendesi wa Bungereza Roy Hodgson. Ono azze mu kifo kya munna Liverpool, Steven Gerrard eyalekulira oluvanyuma lwa Bungereza okuwandulwa mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna Rooney yakateeba goolo 40 […]