Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyemizannyo

Namboole atandise okuwuuma

Bannayuganda batandise okweyiwa mu kisaawe e Namboole okuberawo ng’abajulizi nga tiimu y’eggwanga eyambalagana ne tiimu ya Ghana. Okusinzira ku mawulire agava mu nkabi abazanyi bona bali mu mbeera nungi era ngabalinze saawa bu saawa okuzanya Ghana ku saawa 10 ezakawungeezi. Uganda bwewangula omupiira gwalero eba etangaziza emikisa gyayo egyokwetaba mu kikopo kya Africa cup of Nations ezinabeera…

Read More

Equatorial Guinea y’enategeka AFCON

Ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa kironze eggwanga lya Equatorial Guinea okukyaza empaka za Africa Cup of Nations. Empaka zino zaali zirina okutegekebwa eggwanga lya morocco, wabula olw’okutya ekirwadde kya Ebola Morocco yagaana okutegeka empaka zino. Wano mu Uganda, tiimu y’eggwanga ekyagenda mu maaso n’okwetegekera omupiira n’eggwanga lya Ghana olunaku lw’enkya. Yo tiimu ya Ghana yatuuse dda…

Read More

Poliisi ekakasizza ku bukuumi

Ekibiina kya FUFA n’abaddukanya ekisaawe kye Namboole bakakasizza bannayuganda ku bukuumi nga Uganda ezannya Ghana ku lw’omukaaga Atwala ebikwekweto bya poliisi Andrew Felix Kaweesi agambye nti bataddewo ba ofiisa munda n’ebweru w’ekisaawe okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna ZZo Tiketi z’omupiira guno zatuuse dda ku katale nga osobola okuzisanga ku masundiro okuli Cityoil, Total, gapco Ben Kiwanuka, Shell…

Read More

FIFA esongeddwaamu olunwe ku World Cup

Okunonyereza ku nguzi egambibwa okufumbekera omulimu gw’okulonda anakyaaza empaka z’ekikopo ky’ensi yonna zeyongeddemu kigoye wezinge Kati omu ku bakulemberamu okunonyereza atankanye okunonyereza kuno. Omusajja ono ng’ayita mu munnamateeka we Michael Garcia agambye nti alipoota eyakolebwa FIFA erimu ebituli bingi Alipoota eyakolebwa FIFA yejjereza eggwanga lya Russia ne Qatar,abagenda okutegeka empaka zino mu mwaka gwa 2018 ne 22 Alipoota eno…

Read More

Aba She-Cranes banesogga enkambi

Ekibiina ekikulembera omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga kyakulangirira abazanyi 30 abagenda okutendekebwa okwetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ku lwokutaano lwa week eno . Abanaalondebwa  okugenda mu Australia bakutandika okutendeka nga 18 omwezi gino Omuwandiisi w’ekibiina kino mu ggwanga Annet Kisomose ategezezza nga okutendekebwa bwekugenda okubeera e Namboole era bagenda kutalaga n’ebitundu by’egwanga ebyenjawulo okutandika n’omwezi gwa January. Kino…

Read More

Cranes yesozze enkambi

Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Micho ayise abazanyi 26 mu kutendekebwa okutunda akawungeezi ka leero e Namboole nga Uganda yetegekera omupiira ogwomukwano ne Ethiopia ku Sunday eno nga 9th . Abapya kubayitidwa kuliko Jamal Salim nga ono mukwaasi wa goal okuva mu team ya El Merrikh mu Sudan ne Keziron Kizito okuva mu team ya…

Read More

Diego Costa akomawo mu kisaawe enkya

Muyizi tasubwa wa Chelsea Diego Costa akomawo enkya mu kisaawe mu mupiira wakati wa Chelsea ne QPR olunaku lw’enkya Bino byogedde maneja wa Chelsea Jose Mourinho. Diego eyakateeba goolo mwenda mu mpaka za puliya liigi musanvu asubiddwa emipiira ena oluvanyuma lw’okufuna omuvune ku mukono. Okubulawo kwe ne Remmy kwaleka Didier Drogba ng’atoba yekka mu mipiira egibaddewo

Read More

Omuyiggo gw’eyasse kaputeni wa South Africa gutandise

Omuyiggo gutandise ow’omuntu eyasse abadde kaputeni wa tiimu ya South Africa Senzo Meyiwa Bataddewo ekirabo kya doola emitwalo 22,800 eri omuntu yenna awa amawulire ku batemua basse emunyeenye ya South Africa Meyiwa yalumbiddwa abazigua bayingiridde enju ya mwagalwa we Abadde omutendesi wa Meyiwa agambye nti abadde mwetowaaze eta ng’abadde afuuse omuzira N’abekibiina ky’omupiira ekya  FUFA kikungubagidde Meyiwa gwebogeddeko ng’abadde…

Read More

Ssabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda

Ssabasajja Kabaka asiimye okulabiko eri obuganda ng’aggalawo empaka z’ebika bya Baganda nga 15th omwezi ogujja. Kyo ekisaawe omunazanyibwa empaka zakamalirizo kyakulangirirwa week eno. Omupiira ogwazanyiddwa eggulo,ekika kye’Nte kyesozze semifinals oluvanyuma lwokuwandulamu e’Ffumbe mukakadyo ka penalties 4-1. Kati Ente yakuzanya e Mamba Gabunga nga 22nd omwezi guno mu luzannya oluddirira olwakamalirizo.

Read More