Company ya Planet Fitness Club e’Naalya ewadde team yegwanga eyomuzannyo gwokubaka eya She Cranes ebikozesebwa okuli Amazzi,ebibala wamu ne Gym ebigenda okubayambako mukutendekebwa nga betegekera empaka zekikopo kya world cup ya Netball mu gwanga lya Australia omwaka guno.
Akulira kkampuni eno Martin Juuko ategezezza nga kino bwebakikoze okuyambako team yabakyaala eno okukuuma emibiri gyaabwe nga miramu…
Kiraabu ya Liverpool yanditunda Mario Balotteli okufuna ensimbi ezigula Gonzalo be Sergio Romero.
Yye muyizi tasubwa bwa Newcastle Moussa Sissoko yandiva mu kiraabu ya St James' Park ng’ono yandigenda mu Arsenal.
Empaka z’omupiira wakati wa bannamaggye mu Uganda zongeddwaamu amaanyi aba Wazalendo bwebabawadde emipiira n’emijoozi
Ng’awaayo ebintu bino, akola ku byemizannyo mu maggye Brig Phinehas Katirima agambye nti kino bakikoze okuddiza bamemba
Tiimu 16 zeezigenda okwambalagana mu mpaka ezitandika nga 13 omwezi guno e Kakyeeka, Mbarara.
Omulamuzi wa kkooti ya South Africa akkirizza abemulugunya ku kibonerezo ky’omuddusi Oscar Pistorious okujulira .
Pistoriuous yasibwa emyaka 5 mu October lwakukuba muganzi we Reeva Steenkamp ebyaasi ebyamutta wabula n’atasingisibwa musango gwabutemu banji kyebawakanya.
Abavunaaba Pistorious bagamba omulamuzi Thokozile Masipa teuataputa bulungi mateeka bweyategeeza nga omuddusi ono bweyatta muganzi we nga tagenderedde kyebawakanya.
Abaddusi okuva mu ggwanga lya Russia abaweza ebitundu 99 ku kikumi bakozesa ebiralagarala
Bino biri mu katambi akafulumiziddwa nga kalaga nti abaddukanya ekibiina ky’emisinde mu Russia bagulira ddala ebiragala bino nebabiwa abaddusi okusobola okuwangula emidaali
N’ekibiina ky’emisinde mu nsi yonna kirumbiddwa okusirika nga bino bigenda mu maaso
Wabula aba Russia bino babyegaanye dda.
Empaka za FUFA big league zizzeemu leero okwetoolola eggwanga lyonna
Wemipiira esatu gyegizanyiddwa mu kibinja kya Elgon ate 4 mu kibinja kya Rwenzori.
Abakulembedde mu kibinja kya Elgon aba Kireka United bakwataganye ne kirinnya sss e Jjinja ate Artland K ezannya Maroon mu kisaawe e Luzira
Empaka ziddamu lwamukaaga ng’abali mu kibinja kya Rwenzori bakwatagana
Abakulembedde aba Water FC…
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga kitegese omusomo gwa nnaku bbiri okukubaganye ebirowoozo ku mupiira gwa Uganda
Omusomo guno gwegusookedde dda mu byafaayo bya Uganda era nga ekigendererwa kunyululula mupiira gwa ggwanga.
Bino byonna byogeddwa akulira ekibiina kino Moses Magogo bw’abadde ayogerako eri eggwanga omulundi ogusookedde ddala bukyanga Uganda ewandulwa okuva mu mpaka z’ekikopo ky’amawanga ga Africa
Abadde ali…
Tiimu y’eggwanga elya Uganda Cranes akomawo ku butaka olunaku lwenkya
Abazannyi bano bakutonnya ku kisaawe ku ssaawa musanvu n’eddakiika 35
Yye kaputeni wa wa tiimu y’eggwanga Andy Mwesigwa tagenda kukomawo ng’azzeeyo butereevu eri tiimu ye eya Kazecstan
Tiimu eno jjo yakubiddwa goolo 2 ku bwereere mu mupiira ogwaleese bannayuganda nga bawotose
Omutendesi wa Uganda Cranes Micho amaze okulangirira tiimu egenda okwambalagana ne Guinea mu mupiira gw’okufa n’okuwona eri Uganda.
Uganda yetaaga akabonero kamu okuyitawo oba okuwangula.
Mu bagenda okusooka ku kisaawe kwekuli Denis Onyango,Isaac Isinde, Godfrey Walusimbi,Savio Kabugo, Andy Mwesigwa, Baba Kizito,Kizito Luwaga, Tonny Mawejje, Farouk Miya, Brian Majwega, ne Godfrey Massa.
Omupiira guno gwakutandika ku ssaawa emu era…
Tiimu y’eggwanga eya Uganda cranes yatuuse dda mu kibuga Casbalanca ekya Morocco gy’egenda okukwataganira ne Guinea.
Tiimu eno wetwogerera ng’etandise okutendeka nga yetegekera omupiira guno ogugenda okubaawo olw’okuna
Omupiira guno gwegugenda okusalawo oba Uganda eyitamu okwesogga eza Africa Cup of nations oba Nedda
Uganda yakona okuyitamu okwetaba mu mpaka zino mu mwaka gwa 1970