Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyemizannyo

Gavumenti ya kukuuma ensimbi z’abalwadde

    Ssabaminista w’eggwanga Dr. Rukahana Rugunda agamba nti bavuddeyo n’enkola empya ey’okukuumamu ensimbi okuva mu Global Fund obutabbibwa Ng’ayogerera ku mukolo gw’okussa emikono ku ndagaano egaba ensimbi zino eziweza obuwumbi 1300, Dr. Ruhakana Rugunda agambye nti tebagenda kukkiriza Muntu yenna kwesembereza nsimbi zino nga zakujjiranga mu ddagala oba ebyuuma ebyetaagisa Yye minisita w’ebyobulamu Dr. Elioda Tumwesigye agambye nti…

Read More

Micho yeweredde Tanzania- tukyabongera

Akakiiko k’ebyekikugu kakutuula olunaku lw’enkya okwetegekera omupiira gw’okuddingana wakati wa Uganda Cranes ey’abazanyira ewaka ne Tanzania. File Photo: Uganda craines team Uganda yakubye Tanzania goolo 3 ku bwereere mu mupiira ogwazannyiddwa ku lw’omukaaga ekiro Omutendesi wa tiimu MIcho agamba nti tewali budde bwakutuula nga bakutandikirawo okwetegeka Bano bakuzannya ogw’okuddingana nga nya omwezi ogujja

Read More

FIFA eyimirizza entegeka

Okulonda eggwanga elinakyaaza empaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu mwaka 2026 kwongezeddwaayo Ssabawandiisi wa FIFA Jerome Valcke agambye nti kibadde kijja kuba kya bwewussa okugenda mu maaso n’okulonda eggwanga erinakyaaza empaka zino wakati mu mbeera egenda mu maaso Akalulu akanasalawo ggwanga ki erinategeka kakukwatibwa mu Kuala Lumpar mu gw’okutaano gw’omwaka 2017 Amerika y’ekulembedde ku lukalala lw’abayinza okwuangula yadde nga…

Read More

Uganda etubidde mu mupiira

Uganda esigadde mu kifo kya 71 ku mawanga 209 abasinga okucanga omupiira Bino bifulumiziddwa aba FIFA Uganda  erina obubonero 504 ng’erongosezza okusinziira ku bubonero  485 zeeyalina omwezi oguwedde Mu East Africa, Uganda y’esinga okucanga akapiira Ethiopia eti mu kifo kya 99, South Sudan ya 108, Kenya 123, Tanzania ya  127, ate Burundi ya 134.

Read More

Olunaku lwa baddusi lwa nkya

Uganda yakwegatta ku nsi endala 117 okukuza olunaku lw’emisinde munsi yonna. Olunaku luno lwakukwatibwa olunaku lw’enkya nga mu Uganda wategekeddwaawo emisinde e Namboole okugezesa abaddusi ba Uganda. Omwogezi w’ekibiina ekikulembera omuzannyo guno mu ggwanga Namayo Mawerere ategezezza nti emisinde gyenkya,mwebagenda okulondera team y’eggwanga enakiika mu mpaka ez’enjawulo okuli n’eza babinyweera mu ggwanga lya China Namayo ategeezezza nti yo…

Read More

Abesunze olwa Mayweather ne Pacquiao boogera bingi

Oluzannya wakati  w’omumerika Mayweather ne Manny Pacquiao lweluli ku mimwa gy’abantu mu nsi yonna nga balwesunze nga kyakulya. Bano nno bepimye olwaleero nga Mayweather azitowa pawunda 146 ate Pacuio omu philipino ng’alina pawunda 145. Abantu omutwalo gumu mu lukumi mu bitaano beebaddewo ng’abantu bano beepima. Oluzannya luno olwa nantameggwa w’engumi mu nsi yonna lusuubirwa okuvaamu obukadde bwa doola…

Read More

Ebye Nakivubo bituuse mu palamenti

Abakubi b’ebikonde n’abantu abalala abegattira mu kibiina  kya Kampala Boxing Club bateekateeka kukwanga palamenti kiwandiiko okulaba nga enonyereza ku bigambibwa nti ekisaawe ky’e Nakivubo webasimbye amakanda kyaweereddwawo eri bamusiga nsimbi.   Wiiki eno omukulembeze w’eggwanga y’alagira minisitule y’ebyenjigiriza okukyuusa amanya g’obwananyini bw’ekisaawe kino okudda mu ga musiga nsimbi agenda okukulakulanya ekifo kino azimbewo amaduuka.   Akulira giimu ya  Kampala…

Read More

FIFA tejja kwetonda

Ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kigamba nti ssikyakusasula Muntu yenna oba kiraabu etali nsanyufu olw’empaka z’ekikopo ky’ensi yonna okussibwa mu mwezi gwa November ne December 2022 Aba FIFA era bagamba nti ssibakwetondera Muntu yenna akoseddwa enkyukakyuka zonna mu mpaka zeezimu FIFA yasazeewo omupiira guzanyibwe mu biseera bya butiti mu kifo ky’omusana pereketya

Read More