Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyemizannyo

CHAN etabuse

File Photo: Uganda craines team Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kyakunyonyola Tiimu y’eggwanga ey’omupiira the Cranes amateeka g’ekikopo kya CHAN mwebetabye wali e Rwanda. Eyakuliddemu ekibinja kya Uganda Hamid Juma agamba bakumanya enteekateeka z’okutendekebwa ssaako n’okutangazibwa ku mateeka amalala. Mungeri yeemu omutendesi wa Cranes Micho Sredojevic agamba tiimu yawumudde bulungi nga betegekera omupiira gwenkya. Uganda eggulawo ne…

Read More

Mark Makumbi afudde

File photo: munamawulire Mark makuumbi ngali mudwaliro Bannabyamizanyo bali mu kiyongobero oluvanyuma lw’amawulire g’okufa kwa Mark Makumbi. Makumbi amaze ebbanga nga atawanyizibwa obylwadde bwa kookolo Mwanyina abadde amuliko mu ddwaliro Maama Kaye atutegezezza nga Makumbi bw’afudde ku ssaawa nga 3 ez’amakya galeero.

Read More

KCCA eyongedde okugula abazannyi

File Photo: Aba Kcca mukisawe Aba tiimu ya KCCA FC bakyagenda mu maaso n’okugula abazannyi okwongera okunyweeza tiimu Kati aba KCCA basemberedde okuddamu okugula eyali muyizi tasubwa waabwe Herman Wasswa. Wasswa yoomu ku baava mu tiimu eno mu gw’omukaaga gw’omwaka oguwedde Ssinga Wasswa addamu okwegatta ku KCCA, wakukwatagana buto n’omutendesi Mike Mutebi ng’ono yoomu yamutendeka ko ng’ali mu Villa…

Read More

Guardiola agenda mu Man City

File Photo: Omutendeesi Pep Gadiola Abadde atendeka tiimu ya Bayern Munich Pep Guardiola alangiridde nti wakulekulira omulimu guno atandise okutendeka mu Bungereza. Gyebuvuddeko ono yategeeza nti yali ssiwakwongerayo bbanga ly’ali mu Bugirimaani nga sizoni eno eweddeko. Guardiola agambye nti ayagala kubeerako mu kibuga ekipya mu Bungereza. Yadde tannaba kussa mikono ku biwandiiko, bangi bagamba nti agenda mu Mancity.

Read More

Omupiira gw’ababaka ba palamenti

File photo: Team ya Paramenti nga elimunsiike Tiimi ya palamenti ya Uganda eyokubaka emezze ginaayo eya Kenya 45-9 mu mpaka za palamenti za East Africa ezigenda mu maaso mu kibuga Kigali ekya Rwanda. Olwaleero ttiimu y’omupiira eya Uganda yakuzanya Kenya mu fayinolo okusobola okweddiza ekikopo kyebawangula omwaka oguwedde. Uganda yesize abazanyi nga omubaka e Odonga Otto, Daniel ssekidde…

Read More

Hajji NKambwe ow’emotoka z’empaka afudde

File Photo: Hajji Nkambwe ngali ne mukyala Abantu abenjawulo bakyakungubagira abadde omwogezi wekibiina ekikulembera omuzannyo gwemotoka zempaka Haji Nkambwe afudde enkya ya leero. Ab’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga nabo bawaddeyo obubaka bwabwe obukubagiza Omugenzi okubiddwa ekirwadde kya puleesa enkya ya leero ku ssaawa bbiri ez'okumakya . Amyuka omukulembeze wekibiina ky'omuzannyo gw'emotoka z'empaka Dusman Okee ategeezezza nga omulambo bwegwatwaliddwa dda…

Read More

She Cranes ewanduse mu z’ensi yonna

File Photo: Tiimu ye Gwanga eyo kubaka Tiimu ya Uganda ey’okubaka the she Cranes ewanduse mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka eziyindira mu ggwanga lya Australia. Uganda ekubiddwa Jamaica ku goolo  59-47 nga ne Malawi yabakuba mu luzanya olwasooka mu zisooka eziddirira ezakamalirizo. Rachael Nanyonga asuuse goolo  29  sso nga kaputeeni  Peace Proscovia ateebye 18 . Uganda kati yakuzanya  New…

Read More

File Photo: Kabaka nga samba omupira

Empaka z’ebika zitongozebwa leero

File photo: Kabaka nga gaaba ekikoopo Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakutongoza empaka z’emipiira gy’ebika bya Buganda. empaka zino zakuggulwamu mu butongole Ssabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 nga 26 omwezi guno mu kisaawe e Wankulukuku nga Enkobe littunka ne Ngabi. Mayiga agambye nti ebika yentabiro y’okwegatta wamu n’okutumbula ennono mu Buganda kale nga…

Read More