Bya Ali Mivule
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira batuuse dda mu ggwanga lya Senegal okuttunka ne bananyinimu aba Senegal olunaku lwaleero.
Guno gujja kuba muoiira gwakubiri nga begezaamu mu kwetegekera ogwokusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2019 n’eggwanga lya Cape Verde.
Ogwasoose baagudde maliri 0-0 ne Ethiopia ku kisaawe kya Hawassa International stadium.
Uganda ne Cape verde baakuttunka ne Cape Verde…
Bya Ali Mivule
Aba Kawempe Muslim SS beddiza ekikopo kya liigi y’abakyala omulundi ogwokusatu ogwomudiringanwa oluvanyuma lw’okukuba aba UCU Lady Cardinals 4-0 ku kisaawe kye Wankulukuku.
Juliet Nalukenge y’ateebye goolo 2 olwo Sharon Naddunga ne Favour Nambatya nebateeba endala.
Aba Uganda Martyrs’ High School Lubaga beebakutte ekyokusatu oluvanyuma lw’okukuba Olila High School 3-2 mu penati oluvanyuma lw’okugwa amaliri…
Bya Ali Mivule
Ttiimu ya Kawempe Muslim SS yesozze fayinolo zempaka za liigi y’eggwanga ezokusatu ezomuddiringanwa.
Kawempe yetakuluzzako aba Olila High Scool 2-0 .
Akulembeddemu abateebi Hasfa Nassuna yateebye goolo 2 okuwa Kawempe obuwanguzi .
Kati Kawempe yakuzanya aba UCU lady cardinals abaakubye Uganda Martyrs Lubaga 2-1 mu semi fayinolo endala.
Bya Ali Mivule
Ekibiina ekifuga omupiira ku ssemazinga wa Africa kilonze badiifiri okuva mu ggwanga lya Mauritania okulamula omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Cape verde.
Lemghaifry Bouchaab y’agenda okugubeera mu mitambo nga era wakuyambibwako Aderahmane Warr ne Hamedine Diba nga abawuubi b’obutambaala.
Ye Match Commissioner ava mu ggwanga lya Gambia.
Uganda yakuzanya Cape verd mu z’okusunsulamu abanazanya eza…
Bya Ali Mivule
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda Cranes yayongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo bwebaakubye ttiimu ya Kitara 3-1.
Omupiira guno gwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Buhinga wali mu tawuni ya Fortportal.
Emmanuel Okwio yateebye ggoolo 2 olwo Nelson Senkatuka n’ateeba eyokusatu nga era gwagenze okuwummula nga cranes ebala 3-0.
Beckam Musoki yeyateebedde aba Kitara oluvanyuma…
Bya Ali Mivule
Olwaleero kabbinkano kenyini mu liigi y’eggwanga nga abakulembedde aba KCCA FC baabika ne Vipers.
Omupiira guno ogusuubirwa okubeerako n’obugombe gwakubeera ku kisaawe kya KCCA ekya Phillip Omondi e Lugogo
Oluvanyuma lw’okugwa amaliri ne Sc Villa 1-1 e Masaka, omutendesi wa ttiimu ya KCCA Mike Mutebi ategezezza nti asuubira omupiira guno okubeera omuzibu wabula banonye bubonero…
Bya Ali Mivule
Eyaliko emunyenye ya Rgypt mu kucanga akapiira Hossam Hassan asuubirwa mu ggwanga essaawa yonna okuva kati.
Hassan nga kati atendeka kiraabu ya Al –Masry ali n’ekibinja ky’abazanyi be abasuubirwa okuzanya KCCA FC mu mpaka za CAF Confederations Cup.
Omwogezi wa KCCA Clive Kyazze agamba abazanyi bano basuubirwa olwaleero nga era bakusuzibwa ku woteeri ya Sheraton.
KCCA…
Omukwasi wa goolo ya Uganda Dennis Onyango ye kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga the Cranes omuggya.
Onyango asikidde Geoffrey Massa eyawumudde ogw’eggwanga oluvanyuma lw’emyaka 12 nga awereza.
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredejovic akakasizza kino n’ategeeza nga Onyango bw’alina obumanyirivu okukulembera bulungi banne.
Mukiseera kino Onyango ali ne kiraabu ye eye South Africa eya Mamelodi Sundowns nga era wakukulemberamu…
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kikakasizza nti abantu bataano beebali mu lwokaano lw’anakikulembera omwezi ogujja
Ku bano kuliko Omulangira Ali bin al-Hussein, Sheikh Salman bin Ebrahim al-Khalifa, Gianni Infantino, Jerome Champagne n’abalala
Abakungu mu FIFA bakulonda omukulu anadda mu bigere bya Sep Blatter nga 26th Zurich Switzerland.

File Photo:Miya nga samba omupiira
Kapiteeni wa Uganda cranes Farouk Miya alabudde abawagizi obutasuubira obutagerageranya mpaka za CECAFA zebawangula omwaka oguwedde ne za CHAN zebaggulawo olunaku olwaleero.
Miya agamba empaka zino zanjawulo nga CECAFA mulimu mawanga ga East Africa gokka sso nga eza Chan babingwa bonna aba Africa mwebali.
Wabula agamba bakukola ekisoboka okulaba nga bava mu bibinja.